Tuesday, February 16, 2021

▶️ Poliisi yalinnye eggere mu kabaga k'Abaagalana

▶️   Poliisi yalinnye eggere mu kabaga k'Abaagalana

AKABAGA k'Abaagalana abaakulembedwaamu minisita omubeezi ow'abamusiga nsimbi, Evelyn Anite kaatandise na bbugumu wakati mu kweraga amapenzi n'okulumya abatalina ku ky'eggulo ekyatuumiddwa ‘Valentine's Dinner' ekyabadde ku Serena Hotel mu Kampala wakati mu kulya, okunywa n'okucakala.

                    Abamu Ku Baagalana Abaabadde Ku Kabaga.

Akabaga kano akaategekeddwa munnakatemba Alex Muhangi, Afrigo Band ye yasooseewo okusanyusa abantu olwo Mc Mariach n'ayingirawo n'acamula abaagalana eno nga bwe bamufuuwa ssente.

Mariach olwamaze okuyimba, Spice Diana naye n'ayingirawo n'akuba obuyimba bwe bwonna obw'omukwano okuviira ddala ku bukadde obwasitudde abaagalana mu butebe ne banyeenya ku galiba enjole.

Kyokka Spice yabadde akyayimba poliisi n'eyingirawo ne bamuyimiriza ne babagaana okuddamu okuyimba wadde okuzannya katemba era ne basigaza kimu kya kubeera ku kabaga.

                          Aba Afrigo, Joanita Kawalya Ne Moses Matovu.

Wabula abamu ku baagalana tebaasoose kukitegeera nti baabadde babayimirizza kyokka ku ssaawa nga 2:00 ez'ekiro ne batandika okufuluma nga bwe beesooza era baakitegeeredde wabweru nti poliisi ye yayimirizza abayimbi ne bannakatemba abaabadde babasanyusa.



Ate poliisi e Gulu yakutte 15 okuli abakozi, n'abaddukanya ebbaala ez'enjawulo olw'okukungaanya abantu okudigida ku Valentayini ate ng'amateeka tegabakkiriza olw'obulwadde bwa corona.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu, Patrick Jimmy Okema yagambye nti baakoze ekikwekweto ku lwa Valentaniyi ne basanga nga bagguddewo.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts