
GODFREY Walusimbi (Jjajja Waalu) ne Hassan Wasswa abaaliko empagiruwaga mu Cranes, babuliddwa ttiimu. Walusimbi (mu katono), eyasemba okuzannyira Vllaznia eya Albania mu 2019, gye buvuddeko yalangirira bw'annyuse Cranes asigazza kuzannya gwa kiraabu kyokka n'okutuusa kati ttiimu emubuze.
Ku ntandikwa ya sizoni ewedde, omuzibizi ono yaliko mu nteeseganya ne Police era kigambibwa nti enteeseganya zaali ku ndeboolebo ya kuggwa ne ziziringitana.
"Nkyaliwo era bwe nfuna ttiimu esobola okunteerawo embeera ennungi, ngizannyira kuba omupiira gwe mulimu gwange.
Nandyagadde nnyo okufuna ttiimu ya wano kuba ejja kunsobozesa okufuna obudde obukola ku bintu byange ebirala," Jjajja Waalu bwe yategeezezza.
Mu ngeri y'emu, Wasswa yagambye nti ttiimu ezimwetaaga weeziri kyokka akyalina obuvune era abasawo baamulagira okuwummula emyezi munaana.
"Jeddah ey'e Saudi Arabia yanzuulamu obuvune kuba ebiseera ebimu nali nzannya nabwo. Bandagira nsooke mpummule mpone bulungi nga bwe balaba ekiddako," Wasswa bwe yategeezezza. Mu kaseera kano, Wasswa atendekebwa ne Kyetume FC.