Thursday, February 4, 2021

Ow'omukago gwa Bulaaya asabye Obwakabaka okukuuma ebifo by'ebyafaayo

Ow'omukago gwa Bulaaya asabye Obwakabaka okukuuma ebifo by'ebyafaayo

OMUBAKA w'omukago gwa Bulaaya Attlio Pacifici agenze e Mmengo n'asisinkana Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga n'asaba Obwakabaka okuteeka amaanyi mu kukuuma ebifo by'ebyafaayo kubanga bikola kinene mu kutumbula eby'obulambuzi.

Obugenyi buno bwabaddewo ku Lwokubiri era oluvannyuma lw'ensisinkano eno Mayiga yategeezezza nga bwe baateesezza ku nteekateeka ez'enkulaakulana eziwerako
omuli eby'obulambuzi, ebyenjigiriza, obutonde bw'ensi n'ebirala.

"Ambasada Pacifici ayagala nnyo ensonga z'ennono era ebifo by'ebyafaayo atusabye
tubeere nga tubikuuma nnyo kubanga emirembe egirijja lwe giritegeera ebyafaayo nga birina okuba nga bikuumiddwa bulungi, kabibe bizimbe nga kino eky'e Bulange okulaba nga tubikuuma mu mbeera zaabyo nga tebyonoonese," Mayiga bwe
yategeezezza.

Katikkiro Mayiga yategeezezza nga bwe yabuulidde abagenyi engeri corona gy'akosezzaamu entambula y'emirimu mu Bwakabaka.
"Baagala nnyo okumanya enteekateeka zino bwe zigasaamu abantu. Wabadde wayise
emyaka ebiri nga tajjako wano nga kati azze ne tumuyitiramu ku nteekateeka zaffe n'engeri gye zakosebwamu corona naye ne tumulaga nti tuli bamalirivu okugenda mu maaso".

Pacifici yabadde n'akola ku nsonga z'ebyobufuzi n'amawulire ku kitebe ky'omukago mu Uganda, Anna Merrifield ate avunaanyizibwa ku by'abagenyi e Mmengo, David
Ntege naye ensisinkano eno yagyetabyemu.



Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts