
Bya DICKSON KULUMBA
KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II akungubagidde Munnayuganda James Kigozi. Ono abadde abeera Bungereza emyaka egisukka 40 nga yafudde obulwadde bw'omutima.

"Tujjukira bulungi omukwano gwabadde atulaga ekiseera kyonna. Abadde ayagala nnyo Nnamulondo n'Obwakabaka era nga yenyigira mu mikolo gyonna egitegekebwa abantu baffe e Bungereza omuli empaka z'Emipiira gy'Ebika,Ekisaakaate kya Nnabagereka n'emirala.Tumusaaliddwa nnyo!,"Obubaka bwa Kabaka eri Nnamwandu Nabakooza Kigozi ow'e Bungereza bwe busoma.
Kigozi yafa ku ntandikwa y'Omwaka guno nga Janaury 6,2021 nga yaziikiddwa ku bijja bya bajjajjabe e Kirema-Ssemuto mu disitulikiti y'e Nakaseke nga Kabaka yakiikiriddwa Nnaalinya Elizabeth Nakabiri Ssengaaga.
"Abadde omuntu ow'ekisa,omukozi ennyo ate nga mwetowaaze. Okubeera kwe emitala w'amayanja tekyamwerabiza empisa n'ennono z'eggwanga lye era abadde abyenyumirizaamu n'okubyagazisa abalala. Abadde kyakulabirako kirungi eri abantu baffe e Bungereza," Kabaka bwe yasiimye omugenzi.
Kabaka yasasidde Nnamwandu Nabakooza Kigozi, Lydia Nabaggala olw'okufiirwa Taata n'ab'enganda z'omugenzi e Bulemeezi wamu n'Omukulu w'ekika ky'effumbe Omutaka Walusimbi olw'okufiirwa omuzzukkulu abadde ajjumbira emikolo gy'Ekika kye.
Nabakooza muwala w'omugenzi Polycarp Kakooza eyayiiya oluyimba Ekitiibwa kya Buganda nga Kigozi abadde e London mu Bungereza okuva 1971 gy'abadde asinziira okukola emirimu gye.