
Bya BENJAMIN SSEBAGGALA Ssaabawandiisi wa UNEB, Dan N. Odongo afulumizza enteekateeka enaagobererwa abayizi ku mitendera okuli P7, S4 ne S6 nga bakola ebigezo byabwe ebyakamalirizo.
February 26, 2021 kwe kubuulirira n'okuteekateeka abagenda okukola ebigezo bya S4 olwo batandike okubiwandiika nga March 1, 2021 babimalirize nga April 6, 2021. March 26, 2021 kwe kubuulirira n'okutegeka abagenda okutuula P7 ate babikole nga March 30 -31, 2021 ate April 9, 2021 kwe kubuulirira aba S6 batandike okuwandiika ebigezo byabwe nga April 12 okutuuka May 3, 2021.
Abayizi 1,181,965 be bagenda okutuula ebigezo ku mitendera gyonna, aba P7 bali 749,811 nga kuliko abawala 395,869 n'abalenzi 353,942 ate S4 bali 333,775 kuliko abawala 167,481 n'abalenzi 166,294 n'aba S6 bawera 98,379 nga kuliko abawala 41,212 n'abalenzi 57,167.
Odong yalabudde bonna abakwatibwako abagenda okwenyigira mu mitendera gy'okukola, okukuuma n'okulabirira ebigezo okwongera okufuba okuteeka mu nkola ebiragiro ebyaweebwa minisitule y'ebyobulamu ku kwewala Corona.