Friday, February 26, 2021

Kalidinaali asiimye Omubaka Ocan olw'okulwanirira enfuga y'amateeka.

Kalidinaali asiimye Omubaka Ocan olw'okulwanirira enfuga y'amateeka.

Bya PONSIANO NSIMBI

KALIDINAALI Emmanuel Wamala alabiseeko mu lujjudde oluvannyuma lw'ebbanga ng'abantu bamwebuuza. Kalidinaali okulabikako yabadde asisinkanye omubaka omukazi owa disitulikiti y'e Gulu, Betty Ocan mu maka ge e Nsambya ku Lwokuna. Ono ali ku mulimu gw'okulambula abakulembeze b'eddiini abeegattira mu kibiina Inter -Religious Council of Uganda. 

Kalidinaali Wamala ng'awuubira ku bantu.

Ensisinkano yeetabiddwamu ne Msgr.Charles Kasibante Vika-genero wa Kampala omu ku bammemba ba Inter - Religious Council of Uganda  nga bakubaganya ebirowoozo ku nsonga ezigenda mu maaso mu ggwanga  n'okubasiibula ng'awunzika ekisanja kye.

Kalidinaali yasiimye Aol olw'obukulembeze obulungi, okutabakanira enfuga ey'amateeka, obwenkanya ne ddembe ly'obuntu. Ocan yawerekeddwako ababaka okuli  Lucy Akello omubaka omukazi owa disitulikiti ya Amuru ng'ono yakulira akabondo k'ababaka Abakatuliki mu palamenti, Sandra  Alum Santa Ogwanga owa  Oyam n'abalala.

Aol yategeezezza nti okukyala kuno kwe baliko kwa kulaba nga bogerezeganya ne bannadiini n'okubasaba okubalambika naddala ku bintu ebisoomooza eggwanga  mu kiseera kino.

Yagambye nti ng'abakulembeze beetaaga essaala n'okulambikibwa kw'abakulembeze nga Kalidinaali Wamala mu buweereza bwabwe, okusobola okusalira awamu amagezi  ku butakkaanya mu byobufuzi n'obutali bwenkanya ku bigenda mu maaso mu ggwanga.

Yasabya gavumenti okussa ekitiibwa mu nfuga ey'amateeka n'eddembe ly'obuntu, okukomya okuwamba, okukwata, okutulugunya n'okutta Bannayuganda ssaako okuyimbula bonna abakwatiibwa mu bukyamu.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts