Tuesday, February 2, 2021

Kkooti ziweereddwa ebiragiro ku misango gyonna egy'okulonda

Kkooti ziweereddwa ebiragiro ku misango gyonna egy'okulonda

EKITONGOLE Ekiramuzi kifulumizza ebiragiro ebipya kkooti ze birina okugoberera mu kuwuliriza emisango gyonna egy'ebyokulonda.

Omulamuzi Jamson Karemani yasinzidde ku Media Centre mu Kampala n'ategeeza nti abantu baabulijjo si baakukkirizibwa mu kkooti ng'emisango gy'ebyokulonda giwulirwa olw'okwewala okusaasaanya obulwadde bwa corona,

Yagambye nti balooya b'enjuyi zombi bokka be bagenda okukkirizibwa mu kkooti, omulamuzi ne kalani wa kkooti.

"Kkooti ejja kukkirizibwamu nnannyini musango omuwawabirwa, bannamateeka ab'enjuyi zombi n'abalamuzi ,abantu abasigadde si baakukkirizibwa mu kkooti era baweereddwa amagezi bwe babeera baagala okugoberera omusango gwonna okumanyaa ebigenda maaso mu kkooti baakubirabiranga ku ntimbe za ttivvi.

Kalemani yategeezezza ng'abalamuzi ba kkooti ey'oku Ntikko baamaze dda okweteekateeka okuwulirwa omusango gwa Robert Kyagulanyi Ssentamu gwe yawaabye ng'awakanya ebyava mu kalulu.

Abaamawulire abakola emisango gya kkooti nabo bateeredwaako obukwakkulizo ,oyo yenna anaakola omusango ogwekuusa ku by'obululu ateekedwa okusooka okwewandiisa n'ekitongole Ekiramuzi.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts