Wednesday, February 3, 2021

Uganda efunye omukisa okutwala abeebikonde abawera mu za Olympics

Uganda efunye omukisa okutwala abeebikonde abawera mu za Olympics

BYA FRED KISEKKA

Kiddiridde IOC okusazaamu okusunsulamu okusembayo okwa ‘World Olympic Boxing qualifiers' okubadde kugenda okubaawo mu June w'omwaka guno e Bufaransa.

William Blick Pulezidenti wa Uganda Olympics Committee atuula ku kakiiko k'ensi yonna aka IOC yategezezza bino bwagambye nti basazizaamu okusunsulamu okubadde e Bufaransa olwa ssenyiga wa Corona nga kati bakukiriza abazannyi bonna abatuuka ku semi mu kusunsulamu okwa ssemazinga ezenjawulo.

Kitegeeza abazannyi okuli Isaac Masembe, David Ssemujju, Catherine Nanziri ne Emilly Nakalema abaali bakubibwa kui semi mu kusunsulamu okwaali e Senegal omwaka oguwedde bakwegata ku Shadir Musa eyali yayitamu bakirire Uganda e Japn awanabeera emizannyo gya Olympics.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts