Wednesday, February 17, 2021

Museveni sonyiwa bonna abaakwatibwa mu biseera by'okulonda

Museveni sonyiwa bonna abaakwatibwa mu biseera by'okulonda

BYA STEVEN KIRAGGA

DISITULIKITI Khadi wa Kampala, Sheikh Hamidu Sserwadda awanjagidde Pulezidenti Museveni okusonyiwa abantu bonna abaakwatibwa ku by'ekuusa ku nsonga z'eby'obufuzi naddala mu kiseera ky'okulonda kubanga ekiseera kino kyakusonyiwagana n'okuzza eggwanga obuggya.

Yagambye nti waliwo abantu bangi abaasibibwa kyokka nga tebalina musango wabula nga byonna ebyabakwasa byekuusa ku mpalana za byabufuzi bwatyo n'ategeeza nti kibeera kikyamu okusigala ng'abantu bano batulugunyizibwa ng'ate eby'okulonda byaggwa dda.

Yabadde Kawempe - Jinja Kalooli ewa Sheikh Abubakari Ssenkuba. Yagambye nti, ‘‘waliwo obuvunaanyizibwa ffe ng'abantu bwe tulina okutuukiriza eri gavumenti era nayo erina obwayo eri abantu. Gavumenti yalina okukuuma abantu n'ebintu byabwe era buli ludda lwalemererwa okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwatyo n'asaba tusonyiwagane.

Yeekokodde entalo ezisusse mu Basiraamu nga zeekuusa ku njawukana ku biwayi bye bakkiririzaamu n'ategeeza nti kino kizza Obusiraamu emabega kuba kisiga obukyayi.

Yayambalidde n'abantu abasaagira mu kirwadde kya Covid 19 n'asaba okukikomya okuggyako nga baagala kufa. Yasabye ba Sheikh okufuba okugoberera ensonga z'eby'obulamu ezaalambikibwa abasawo.

Ye RCC wa Kawempe, Dauda Kato asabye Abasiraamu okwegatta okugannyulwa mu pulojekiti za gavumenti okwekulaakulanya.

 

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts