Bya Samuel Balagadde
Ekitongole kya UNRA kitandise ku nteekateeka z'okusolooza ssente ku bidduka ebyeyambisa oluguudo lwa Kampla -Entebbe Expressway.
UNRA yapatanye kkampuni ya GSL Ok Road Corporation okuva mu ggwanga lya Bufaransa okukola omulimu guno. Allen Kagina akulira UNRA yagambye nti endagaano ne kkampuni eno bagenda kugissaako emikono mu March w'omwaka guno.
Oluvannyuma bagenda kugiwaayo ekiseera okweteekateeka nga tebannaba kutandika kusolooza ssente. Amateeka agalung'amya okusolooza ssente ku luguudo luno gaamala dda okuyisibwa palamenti nga kati kisigalidde eri minisitule y'ebyensimbi n'ey'ebyenguudo okusalawo omuwendo.
Kagina okwogera bino yabadde ayanjula alipoota y'ekitongole ku biki bye batuuseeko mu bbanga ery'emyezi omukaaga okutuuka mu December wa 2020. Yagambye nti bakoze enguudo 26, ebidyeri 11 n'okussaako emikono ku ndagaano ey'okukola enguudo ez'enjawulo.
Ying. Joseph Otim dayirekita wa UNRA avunaanyizibwa ku by'okuddaabiriza enguudo agambye nti wakati mu kusoomoozebwa kw'enkuba etonnya, basobodde okuddaabiriza ezimu ku nguudo.
Source