Wednesday, February 3, 2021

Okulonda kwa LC3 e Lukaya tekujjumbiddwa

Okulonda kwa LC3 e Lukaya tekujjumbiddwa

Bya Ssennabulya Baagalayina 

Abavuganya ku bwameeya bw'ekibuga ky'e Lukaya mu Kalungu beeronze mu bifo eby'enjawulo buli omu n'awaga nti obuwanguzi bumuli mu ttaano.

Farouq Buyondo.

   MMeeya aliko Gerald Majera Ssennyondo alondedde ku kkanisa e Kalungu n'agamba nti agenda kuwangula n'ebitundu 80 ku buli kikumi. 

    Munna NUP, Charles Tamale alondedde mu kisaawe e Bbulakati n'awera nti NUP yetisse Kalungu nti ne Lukaya erina okugiwangulira waggulu. 

Charles Tamale.

    Farouq Buyondo azze ku lulwe alondedde ku Wagwa n'agamba nti ye azze nga mugattabantu ng'alina okuwangula n'ebitundu 85 ku 100. 

    Ate Hajji Abubakar Kyambadde alondedde ku Madarasat n'awera nti obuwanguzi bubwe n'ayita banne beetegeke okumwegattako ku kabaga k'okumuyozaayoza.

Hajji Abubaker Kyambadde.

 

   Wabula bennyamidde olw'abalonzi okubeera ab'olubatu ng'abasinga ebbugumu baalirina mu k'obwapulezidenti. 

 

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts