
Ralph Hasenhuttl, atendeka Southampton akiikidde ddiifiri Mike Dean ensingo olw'ennamula ye nga bazannya ManU ku Lwokubiri.
Baatimpuddwa ggoolo 9-0 Hasenhuttl n'afuuka omutendesi asoose okukubwa ggoolo 9-0 emirundi ebiri mu byafaayo bya Premier. Mu October wa 2019, Leicester yalumba Southampton ku St Mary's Stadium n'egikomerera ggoolo 9-0.
Hasenhuttl yagambye nti, "Tubadde babi naye osanga ne ddiifiri akoze kinene okutubijjisa." Mike Dean yawadde musaayimuto Alex Jankewitz kaadi emmyuufu mu ddakiika eyookubiri olw'okulinnya McTominay mu vviivi. Mu ddakiika ey'e 86, ddiifiri era yawadde Bednarek kaadi emmyufu olw'okulemesa Martial okuteeba. Ku kisobyo kino, omutendesi wa ManU, Ole Gunnar Solskjaer yagambye nti ddiifiri yasussizza obukambwe.
Wabula Hasenhuttl yagambye nti bagenda kudda n'amaanyi nga bwe baakola mu 2019. "Kyabaddewo ate kyali kibaddewo nga naffe tujja kukivaamu nga bwe gwali ku Leicester mu 2019," Hasenhuttl bwe yategeezezza.
Jankewitz naye yagenze mu byafaayo by'abazannyi abakyasinze okufuna kaadi emmyufu mu budde obumpi ku mupiira ogusooka mu mujoozi gwa ttiimu.