Sunday, February 21, 2021

Omuggalo gunyize bayimbi ne basala entotto

Omuggalo gunyize bayimbi ne basala entotto

ABAKULEMBEZE b'ekibiina kya National Union of Creative Perfoming Artist and Allied Workers ekyatandikiddwawo okugatta ebibiina bya Bannabitone bonna basaze entotto ku ngeri y'okwahhanga ebizibu ebibagwako obugwi nga ekya Corona ekyaleeta omuggalo.

Baabadde mu kuggalawo olusirika olw'ennaku esatu mu Maria Flo Hotel e Masaka nga baabanguddwa mu bukodyo bw'okwekulaakulanyiza awamu kitole nga basobola n'okwahhanga embeera yonna.

Baakuliddwa ssentebe, Philip Luswata ne Anita Nannozi Sseruwagi, Haliima Namakula (owookubiri ku ddyo), Phina Mugerwa Masanyalaze, Moreen Kabasiita, Sam Gombya (ku kkono) n'abalala. Bategeezezza nti ekibiina kino kyatondeddwawo nga manvuuli omwegattira ebibiina byonna okuba n'eddoboozi ery'awamu mu kwahhanga ebizibu by'obwavu nga basitulagana, obwenkanya mu mateeka, obulwadde n'ebirala.

Baanokoddeyo eky'abalwadde nga Evyline Lagu n'abalala nti bajja kulwanira wamu mu by'obujjanjabi bw'amalwaliro n'awaka.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts