HELLEN Nakimuli omubaka omukazi omulonde owa disitulikiti ye Kalangala teyamanya nti ebya situlago biribaamu embooko z'obukulu teyandibigenzeemu. Anti baamukiise omuggo era yavuddeyo situlago agyasimula bugolo.
Wiiki eno nga Robert Kyagulanyi atwala ekiwandiiko ky'okwemulugunya ku kutyoboola eddembe ly'obuntu ku ofiisi za UN e Kololo, Nakimuli yabukeerezza nkokola okuva e Kalangala okujja yeegatte ku Kyagulanyi ng'atwala ekiwandiiko. Kyokka gye byakidde nga y'omu ku baalemeseddwa okutuuka ku ofiisi za UN.
Anti waayise akaseera katono amagye ne galumba ne gatandika okukuba buli eyabaddewo embooko nga tebataliza oba oli ani anti ne bannamawulire abamu bakyanyiga biwundu. Ono yalabiddwa ng'omuserikale amuwujja omuggo n'okumutega ‘engwala' era olwamutuuseeko n'amuyisaamu empi ng'akirako akuba omwana omuto wamma ne yeevuma ebyobufuzi.
Wabula wadde yakubiddwa naye yalaze nti emisinde agyesiga ekyavuddeko abamu okwebuuza oba emisinde gya Nzikulu ye yagisigaza.