OMULABIRIZI w'e Mbale, Patrick Gidudu akangudde ku ddoboozi n'agugumbula Abagisu abatava mu kulwanagana ekibaleetedde okusigala emabega nga ebiseera bye bandimaze mu kwekulaakulanya babimalira mu kwerwanyisa, ekibaviirako okuba na bakulembeze b'ennonno ababiri okuli Jude Mike Mudoma ng'ono baamutuuliza ku Sports Club Hotel e Mbale ne John Amram Wagabyalire eyatuuziddwa mu lubiri lwa Umukuuka e Maluku.
Yabasabye okuggya ebyobufuzi mu nnonno za Bugisu nga kino kibafudde baamulugube abeeyagaliza bokka. Omulabirizi Gidudu yalaze obwennyamivu olw'Abagisu okuba nti bali mu kuswazibwa ng'abakulembeze b'ennonno okwetooloola eggwanga babatunuulira.
Omulabirizi Gidudu yabyogeredde Bududa mu kuziika Umukuuka Bob Mushikori eyafudde ekirwadde kya corona.
Ku kusika omuguwa okuli mu bukulembeze bw'ennonno mu Izhu ya Masaba, minisita Peace Mutuuzo yategeezezza nga gavumenti bwe biyingiddemu ng'egenda kubatuuza enjuyi zombi bagonjoole ekizibu kino, bwe kigaana waakiri okulonda Umukuuka kuddibwemu.