Tuesday, February 2, 2021

Poliisi ewadde ebiragiro ku bawambibwa

Poliisi ewadde ebiragiro ku bawambibwa

Bya JOSEPH MAKUMBI NE ERIA LUYIMBAZI NE LAWRENCE KIZITO                                                              AMYUKA omuduumuzi wa poliisi mu ggwanga, Maj. Gen. Petre Lokech alagidde abakulira ebitongole ebinoonyereza ku misango n'ekitongole ekikessi okutalaaga obuduukulu bwonna nga banoonya abantu abagambibwa okubuzibwawo n'okuwambibwa bamuwe olulalala lw'amannya gaabwe.

Jamir Walugembe ssentebe wa Kimaanya ng'alaga emiggo egyamukubiddwa ab'amagye nga bamukwata egyamumenye omukono gwa ddyo.

Lokech okuvaayo bwati kiddiridde abantu okuva mu bitundu eby'enjawulo okubuzibwawo ne batwalibwa mu mmotoka ezaakwazibwako erya ‘Drone' ezigambibwa nti, za ba byakwerinda ne batwalibwa mu bifo etibamanyiddwa ne baleka abeng'anda zaabwe nga basobeddwa.

Bwe yabadde ayogera eri bannamawulire ku kitebe kya poliisi e Naggulu ku Mmande, Maj. Gen. Lokech yagambye nti, yalagidde akulira ekitongole ekinoonyereza ku misango Grace Akullo n'akulira ekitongole kya poliisi ekikessi Brig. Ddamulira Ssemakula okumuwa olukalala lw'abantu abazze bakwatibwa n'abali mu buduukulu bamuwe lipoota mu bwangu. 

Stephen Ntulume (wakati) yatwalibwa ne muganda we Isma Ssenkubuge, wano yali ne mikwano gye.

agambye nti, bwe kinaazuulwa ng'abantu abaabuzibwawo bakuumirwa mu bitongole by'ebyokwerinda, bajja kulagira abaddukanya ebitongole ebyo okutwala abantu abo mu kkooti bwe baba babalinako emisango era abatatwaliddwa mu kkooti bayimbulwe kubanga ssemateeka alagira omuntu okutwalibwa mu kkooti mu ssaawa 48.

Mu ngeri yeemu Maj. Gen. Lokech yalabudde abakungu abaweebwa abakuumi ne babakozesa emirimu egitali gyabwe nga bwe bagenda okubabaggyako kuba kizuuliddwa nti abamu babakozesa okwenyigira mu bintu ebimenya amateeka omuli okutiisatiisa abalala okubasituza ensawo.

Kyokka Lokech yalabudde abantu n'obubinja obw'enjawulo obugambibwa okutiisatiisa abantu n'okulagira obutabaako mirimu egikolebwa ng'okuggula amaduuka n'ategeeza nti poliisi n'ebitongole ebirala bigenda kunyweza ebyokwerinda.

BAWADDE EBIRAGIRO KU MISANGO EGITWALIBWA MU KKOOTI                                                                Omwogezi w'ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw'emisango, Charles Mansio Twine yagambye nti, abantu bonna abagamba nti abantu baabwe baabuzibwawo, baabalagidde bagende ku poliisi baggulewo emisango era waliwo emisango egyagguddwawo e Mukono n'e Nansana mu Wakiso.

Yayongeddeko nti, abaserikale abamu, basooka kugaana kuggulawo misango gy'abantu wabula abantu bwe beemulugunya gye bali, baawa abaserikale bonna ekiragiro okuggulawo emisango gy'abantu era kati bagiggulawo awatali kwetoloola kwonna.

"Abagguddewo emisango twatandise okunoonyereza ku bantu baabwe era twaweerezza obubaka bwe tuyita "WT" ku buli muserikale okunoonya abantu abo," Twine bwe yagambye. Yagasseeko nti, baakebedde mu buduukulu bwabwe bwonna nga tebalina bantu boogerwako era nti bagenda kutuukirira ffamire zonna ezaabulwako abantu babawe obufaananyi babalange mu mawulire okuyambako mu kubanoonya.

Yayogedde ne ku bigambibwa nti abaserikale be babuzaawo abantu n'alambulula nti: Ssi buli akwata emmundu nti abeera wa poliisi; abatemu abatta abantu bakozesa mmundu, abawamba abantu nabo bakozesa mmundu n'ebitongole by'ebyokwerinda ebirala bikozesa mmundu ate nabyo bikwata abantu," Twine bwe yagambye.

Yagasseeko nti, abantu abaabula bwe baba baakwatibwa bitongole birala, ekirungi UPDF yateekawo enkola bw'eba nga y'ekutte omuntu, bannanyini muntu basobola okutuukirira abakulu mu UPDF ne bababuulira oba be balina omuntu waabwe oba nedda.

Yayongeddeko nti, waliwo abantu abaali bagambibwa nti baabuzibwawo naye bwe baanoonyerezza, baakizudde ng'abamu baatwalibwa mu kkooti za bulijjo abalala mu kkooti y'amagye ne basindikibwa mu makomera.

Kyokka abantu bakyali bangi abalaajana nti abantu baabwe baawambibwa baserikale era tebamanyiddwa gye bakuumirwa ate abalala balumiriza abaserikale nti baabakwata ne batulugunyizibwa nnyo era oluvannyuma ne bayimbulwa nga tebagguddwaako musango gwonna.

EBITUNDU GYE BASINZE OKUBUZAAWO ABANTU;                                                                                          Abantu ababuzibwawo abasinga bali mu bitundu bya Mukono, Masaka, Ntebe, Nansana ne Mityana. Abalala b'e Iganga, Arua, Mpigi. E Mukono, abatuuze balumiriza nti, Drone bbiri enjeru ze zitwala bannaabwe, e Nansana n'e Ntebe, Drone ne Super Custom, ate e Masaka bagamba Drone enzirugavu eteriiko nnamba, buli lwe bagiraba emitima gibatundugga.

Michael Mulindwa Nakumusana, omukwanaganya w'ekibiina kya (NUP) mu Masaka agamba nti, abantu baabwe babadde bakwatibwa okuva nga November 18, Kyagulanyi Ssentamu lwe yakwatibwa mu disitulikiti y'e Luuka. Yagambye nti, okuwamba abantu n'okutta bingi mu Masaka naye bamakanika n'aba bodaboda be basinze okubuzibwawo.

"Nga 18, 19 ne 20 November, baakwata Andrew Kayiira ne munne e Kasijjagirwa ne batwalibwa mu bbalakisi y'amagye ne bongerako abalala basatu era abo be baasooka okubuzibwawo," Mulindwa bwe yagambye. Yagambye nti, waliwo omukazi Grace Nakalyango eyabadde olubuto lwa myezi mukaaga abaserikale gwe baakubye olw'okwambala ekiteeteeyi ekimyufu ne bamusambasamba n'afiira mu ddwaaliro.

Yaziikiddwa nga January 17 ku kyalo Bugoma e Kalangala. Ate e Mukono, abantu abasoba mu 30, baabuzibwawo nga ku bano, omu yazuuliddwa ng'attiddwa, omulala baamuzudde Kakiri ng'akubidwa ne bamukutula omugongo ate abalala bakyabuze.

Richard Lubwama Mukubabyasi omu ku balondoola ensonga zino mu bitundu by'e Ntebe agamba nti, bangi abawambiddwa ne bataddamu kulabikako. Kyokka ku Lwomukaaga nga January 2, 2020, abeebyokwerinda baayimbuddeko mukaaga ku babadde banoonyezebwa nga kuliko, Ssaazi, Bakari, Wasswa, Brian ne Musinguzi.

Bano baabuzibwawo nga beeyambisa mmotoka bbiri okuli; Toyota Super Custom eyaliko nnamba UAM 215N ne Toyota Drone nnamba UAX 186T. Waliwo abalala mukaaga be bakyanoonya okuli; Ashiraf Nsubuga, Reagan Ssentongo, Jamir Kigozi, Julius Kayiwa n'omulala gwe bamanyiiko erya Khassim.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts