Bya HUSSEIN BUKENYA Airtel Kitara 2-3 URA Police 3-1 Onduparaka UPDF 2-0 Mbarara City POLICE FC obusungu bw'okukubwa Vipers ebumalidde ku Onduparaka, gy'ewuttudde ggoolo 3-1. Obuwanguzi buno bwayongedde okulaga nga Police bw'erinnyisizza ggiya y'okuwangula ekikopo kya liigi sizoni eno.
Yazzeeyo mu kyokubiri ku bubonero 19 emabega wa Vipers ekulembedde ku 21, nga bonna baakazannya emipiira mwenda. Police yasemba okuwangula ekikopo kya liigi mu sizoni ya 2005. Johnson Odong (2) ne Eric Ssenjobe, be baateebedde Police, ate Emma Okecho n'ateeba eya Onduparaka.
Omutendesi wa Police, Abdallah Mubiru yagambye nti sizoni eno baagyetegekera bulungi era ekigendererwa kyabwe kya kuwangula buli mupiira.
KITARA ESATTIZZA URA URA yawangudde Kitara ggoolo 3-2, kyokka abazannyi baayo baafulumye ekisaawe nga bawejjawejja. URA ye yasoose okuteeba ng'eyita mu Shafiq Kagimu, Steven Mukwala ne Brian Majwega mu kitundu ekisooka, abawagizi ne balowooza nti gwakubanguyira.
Gye byeyongedde nga Ronald Kyamanywa ne Denis Monday bateebedde Kitara, puleesa ne yeeyongera mu batendesi n'abawagizi ba URA nga balaba obubonero bugenda. Kitara y'eddiridde ekoobedde, nga mu mipiira gye yaakazannya terina wiini, okuggyako amaliri ga mulundi gumu. URA yasembedde mu kyokuna ku bubonero 18.