Thursday, February 25, 2021

Engeri okulonda ne Covid - 19 gye byongedde obulwadde bw'entunnunsi

Engeri okulonda ne Covid - 19 gye byongedde obulwadde bw'entunnunsi

Bya MADINAH SEBYALA                                                                                                                                                       ABAAWANGUDDE n'abaagudde mu kalulu akaakaggwa bangi baakavuddemu balwadde entunnunsi. Ku bano bw'ogattako abo okweraliikirira ssennyiga omukambwe be kukosezza wamma abalwadde bw'entunnunsi oba puleesa ne beeyongera.

SSAALONGO MUKASA KABU: Nafuna puleesa ku myaka 50, kyokka nnali nnywa nnyo omwenge kwe kuguvaako.

Dr. Augustine Kato eyakolerako mu ddwaaliro e Mulago nga kati yeekozesa yekka e Kayunga ne Mukono agamba nti embeera eno esinze kuva ku bunkenke obubaddewo mu byobulamu olwa ssennyiga omukambwe n'ebyobufuzi. lWaliwo abeeraliikirira olw'emirimu egyaggwaawo nga n'abagirina ssente za munaganwa ezitabasobozesa kukola ku byetaago byabwe.

lWaliwo okweraliikirira okuva ku b'omu maka ng'abaana naddala bano abafunye omugejjo olw'obutasoma, waliwo okuva ku butabanguko maka n'embeera yonna ereetera omubiri obutafuna ssanyu byonna bivaako entunnunsi oba puleesa. lEntunnunsi oluusi ziva ne ku ssigala kubanga taaba alimu ekirungo ekirimu ebiragalalagala ebyobulabe ebisannyalaza omubiri ne gukyukamu nkola yaagwo.

lOkulya omunnyo omubisi.Omunnyo naddala ogwongeddwaamu oba oguteekebwa ku mmere yonna nga togufumbyeko gutaataaganya emisuwa ne gugootaanya enkola y'omutima ekivaako puleesa. lOmwenge nagwo guleega ebinywa ne bikaka omutima okukola ennyo. Era omuntu anywa omwenge, puleesa wadde omira eddagala kizibu okukka era puleesa etera okusannyalaza omulwadde olumu n'akyuka oludda.

lEmyaka. Okuva ku myaka 60 omubiri gutuuka ne guleeguuka ekyongera obulabe bw'okufuna puleesa. l Famire bw'eba ng'erina obulwadde bwa puleesa nga butambulira mu musaayi, abaana n'abazzukulu banyinza okubufuna. lEddagala. Kyabulabe okumira eddagala ng'omusawo tasoose kulikuwandiikira n'okuzuula obulwadde.

Waliwo eddagala ly'omira ng'ekipimo kyalyo kiyitiridde oba kiri wansi ne lifuuka obutwa ne lyonoona ekibumba omutima nagwo ne gunafuwa.

OBULABE BWA PULEESA                                                                                                                                                                        Dr. Harriet Nakuya omukugu mu kujjanjaba endwadde z'omutwe mu ddwaaliro lye Butabika agamba nti puleesa efuuka obulwadde singa sipiidi y'omusaayi esukka ku ya bulijjo. Kino kibaawo ssinga emisuwa egitambuza omusaayi gifunda. Puleesa waliwo lw'efuula omuntu nga mulalu.

Waliwo gw'osanga mu kkubo nga yeeyogeza yekka ekivaamu kufuna ndwadde za mitwe era Dr. Harriet Nakuya mu ddwaaliro ly'e Butabika agamba nti abatabufu b'emitwe be bafuna obulwadde bwabwe abasinga butandikira mu puleesa.

EBIKOLEBWA OKUZIYIZA PULEESA                                                                                                                                                        lOkukola emirimu egituuyanya. Kino kiyamba okugogola emisuwa okusobola obutawa kaseera kazibu mutima okutuusa omusaayi obulungi mubiri. lOkwewala okulya emmere ensiike. Bw'ogenda ku mukolo weewale okutikka essowaani emmere kubanga ssinga ebeeramu butto omungi aleeta omugejjo.

lWeewale emikwano egitakugasa kubanga waliwo egikuyigiriza okunywa omwenge, sigala enjaga, emmindi kyokka nga bya bulabe ebikuteeka mu katyabaga okufuna puleesa. lOkujjumbira okugenda mu masinzizo kubanga bannaddiini babuulirira ebigambo ebizzaamu essuubi ate era kiyamba n'okukyusa ku kifo ekiwa obwongo bwo ekintu ekipya ne kikuggyamu okweraliikirira.


Source
Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts