SSAABALAMUZI Alfonse Owinyi Dollo agaanidde mu musango gwa Kyagulanyi Ssentamu n'agamba nti, yadde yawolerezaako Pulezidenti Museveni mu musango gw'ebyokulonda mu 2006 tekijja kumulemesa kusala na gwa Bobi.
Kino kyongedde okunafuya emikisa gya Kyagulanyi mu kkooti kubanga emu ku nsonga naye kw'abadde asibidde olukoba ye ya Ssaabalamuzi Dollo okuba n'akakwate ku Museveni ng'agamba nti tajja kufuna bwenkanya ng'omuntu eyawolereza Museveni mu musango gw'okubba obululu mu 2006, ate y'akulembedde abagenda okuwozesa omusango gwe gumu, era ng'ayagala omusango aguveemu.
Era eno y'emu ku nsonga ze yawadde bwe yabadde alangirira lwaki yasazeewo okuggyayo omusango mu kkooti ng'agamba nti Abalamuzi bano tebayinza kuba na bwenkanya gy'ali nti era baalagiddewo dda kyekubiira okutandikira ddala ku kugaana okumuwa ekiseera ekimala okukuhhaanya obujulizi bw'aleeta mu kkooti.
Bobi tannaba kutegeeza mu butongole kkooti nti yaggyeeyo omusango era kino bw'anaakikola alina okuwa abalamuzi ensonga, olwo kisigalire balamuzi okusalawo oba nga bamukkiriza okuguggyayo oba nedda.
Dollo yagambye nti: "Kituufu nnaliko Minisita mu Gavumenti ya Museveni era nnaliko looya wa Museveni mu 2006 nga Dr. Kiiza Besigye amuwaabidde naye kino tekisobola kuhhaana kusala mazima.
Okwogera bino yabadde mu kkooti mu musango gwa Hassan Male Mabiriizi mwe yabadde amusabira ave mu musango gwa Bobi ng'agamba nti okusinziira ku nkolagana gy'alina ne Museveni abantu tebakyamusuubiramu bwenkanya ku nsonga ezirimu Pulezidenti, nti era yandifunye ku nsonyi n'azeesonyiwa.
Dollo yabuuzizza Mabiriizi nti; Bwe wali onnoonyerezaako lwaki ebimu wabirekayo, byonna wandibireese abantu ne bamanya ekituufu? Ky'ogamba bwe wannoonyerezaako tewamanya nti mu 1994 nnawolerezaako kakensa Newton Ojok gwe baali bavunaana okulya mu Gavumenti ya Museveni olukwe. Yawangula omusango, mu 2006 ne nsisinkana akulira abayeekera ba LRA Joseph Kony mu kibira kya Garamba e Congo nga ngezaako okumuperereza akome okutta abantu ate mu 1985 ne nkulira abaakola ebiwandiiko by'okussaako omukono Gavumenti ne Kony okukomya olutalo?
Mabiriizi yamuzzeemu nti: Oweekitiibwa ebyo byonna mbimanyi naye byadda nnyo abantu tebakyabijjukira. Abantu basinga kukujjukira mu 2006 bwe wali looya wa Museveni era olw'ensonga eno osaana ove mu musango gwa Bobi.
Omulamuzi omulala Stella Araach Omoko yayingiddewo n'abuuza Mabiriizi nti mu 2006 Odoki ye yali Ssaabalamuzi wa Uganda era yaliko minisita wa Museveni ate 2016 Katureebe n'abeera Ssaabalamuzi naye kkampuni ya bannamateeka eya Kampala Associated Advocates gye yatandikawo ye yawolereza Museveni olowooza bbo tebaali benkanya ye lwaki tebaava mu musango gwe.
Mabiriizi: Ekiriwo kati kyanjawulo nnyo n'ebyo ebyaliwo ku mulembe kwa Katureebe ne Odoki kubanga nga looya, Museveni yalina okusasula Dollo ne kireetawo enkolagana ey'enjawulo. Dollo ne bw'agamba nti mu 2006 Museveni yamuwolereza ku bwereere ate kiba kimuteeka awazibu ennyo kubanga kiraga nti baamukwano nnyo era tasobola kusala kintu kitamusanyusa.
Mabiriizi yagenze mu maaso n'ategeeza Dollo nti okutuula obutuuzi mu musango gwa Bobi abantu bakitwala nti teri mazima g'agenda kusala era ku muntu owaabulijjo ayinza okulowooza nti ekyaviirako Museveni okulonda Dollo okufuuka omulamuzi wa kkooti Enkulu mu 2008 yali amwebaza olw'okumuwolereza omusango obulungi.
Dollo; Okimanyiiko nti okulondebwa kwange okufuulibwa Ssaabalamuzi akakiiko ka Judicila Service Commission ke kaasooka okunsemba era singa akakiiko kano tekaakikola sandirondeddwa?
Mabiriizi; Ekyo nkimanyi bulungi naye era akakiiko kaweereza Museveni amannya agawerako naye n'alondamu liryo ekiraga nti mulimu akantu.
Dollo; Lwaki ogezaako okwegatta mu musango gw'otaleeta mu kkooti.
Mabiriizi; Ngezaakao kulwanirira Ssemateeka kubanga ffenna bwe tulaba ensobi ng'ekolebwa ne watabaawo akyogerako ekiyinza okubeera nange sikimanyi. Ggwe kubamu akafaananyi singa omukazi aloopa omusango nga bba ye mulamuzi agenda okugusala bwe watabaawo muntu nga nze yeemulugunya, bwenkanya ki obuba bugenda okusalwa.
Dollo; Emyaka 15 emabega bukyanga mpolereza Museveni naye waliwo etteeka erigamba nti oluvannyuma lw'emyaka 3 nga omaze okuwolereza omuntu osobola okuwolereza oludda olulala kino tokiwulirangako.
Mabiriizi; Nkimanyi naye kikola ku bannamateeka naye ggwe, kati oli mulamuzi ate ogenda kusala omusango gw'omuntu gwe wali owolerezza.
Dollo eyabadde awulira ensonga ogumukwatako obutereevu, yakkomekkerezza okusaba kwe akugobye n'amutegeeza nti ensonga kwe yeesigamye ajja kuziwa ng'asala omusango gwa Bobi.
Mabiriizi yabadde n'okusaba okulala ng'ayagala ensala ya kkooti Dollo gye yaliko abalamuzi bwe baali bagaana Bobi okukola ennongosereza mu mpaaba ye esazibwemu.
Yabadde agamba nti engeri Dollo gye yali ku balamuzi omwenda abaagoba okusaba kwa Bobi byonna ebyakolebwa bifu.
Mabiriizi yagezezzaako okusaba abalamuzi bonna baleme kugendera ku bya Dollo okugaanira mu musango gwa Bobi wabula bbo bakkirize okusazaamu ebyasooka okusalwa naye abalamuzi ne bamutegeeza nti kabasooke beetegereze ensonga bagenda kumuyita.
Wednesday, February 24, 2021
▶️ Ssaabalamuzi Dollo alemeddeko ku bw'omusango gwa Bobi
Popular Posts
-
HERBERT Twine (wakati) eyakuyimbira ennyimba nga 'Saabisaanira, Sibyakyama, Ompangudde ne Siryerabira ...
-
EGGWANGA we libeeredde mu muggalo, abantu babadde ku mudido gwa bibbala ng'omwav...
-
Police in Mubende district have launched a manhunt for Khalisiti Mutatina, who is accused of stabbing to death his wife's lover, Ignitio...
-
HAJJI Abdul Kiyimba, mmeeya wa Kyengera Town Council ayogedde ku butakkaanya bwe yal...
-
EMBEERA y'akabuga Lukaya ku luguudo lwa Kampala-Masaka ekyali ya kimpoowoze okuva omuggalo gwa Corona...
-
For over the past year, Dfcu bank has received criticism for being reluctant with data security after leakage of vital information like bank...
-
In many homes around Jebel Boma county, dinner consists of bitter-tasting leaves that can be picked off the bushes outside. The leaves are...
-
ABATUUZE okuva mu byalo 10 ebikola omuluka gw'e Kasubi beeyiye mu bungi ku ssom...