OLUTALO nnamba nnya mu maka ga Sheikh Nuuhu Muzaata lwakuliddwa Minisita Nakiwala Kiyingi eyazzizza Kluthum Nabunnya mu nju.
Kyokka Nakiwala avunaanyizibwa ku nsonga z'abaana atangaazizza nti yazzizzaayo mwana wa Muzaata, Anwar Ssessanga 12, gw'atayinza kukkiriza kusula bweru mu mpewo ng'enju ya kitaawe weeri. Olw'okuba Ssessanga tannaweza myaka 18, olwo maama we Kluthum kwe kugenderako okumulabirira.
Nga Kluthum amaze okuyingira enju, ng'amaka geetooloddwa poliisi ate Hajjati Amina Mugirita eyali muka Muzaata n'ayingirawo ng'agamba nti amaka gage era Kluthum alina okugavaamu.
Yavudde mu mbeera n'afukumula ebisongovu nti amaka ago agasangibwa e Kawempe mu Keeti-Falawo, gage. Muzaata teyagassaako wadde 100/- okugazimba.
"Muzaata yampasa ndi mwana muto. Nnanoonya ssente e Thailand nga nsuubula engatto n'ensawo ne ngula poloti mu 1992. Nnatandika okuzimba mu 1993 ne tuyingira enju mu 1996. Muzaata yali musomesa ku Bilal e Bwaise ng'afuna omusaala 150,000/-. Ezo zizimba enju eno?", bwe yeebuuzizza.
"Enju ya baana bange abakulirwa Amjad Ssozi ono ye musika wa Muzaata. Omwana wa Kluthum (Ssessanga) simulinaako mutawaana. Obuzibu mbulina ku Kluthum kubanga Muzaata yafa Kluthum yanoba dda. Lwaki akomawo kati? Bwe yali anoba omwana yamuleka lwaki agamba nti ajjidde ku mwana?" bwe yeebuuzizza.
Eggulo ku makya, Kluthum n'omwana we Ssessanga ng'ali n'aba ffamire okuli maama we, Hajjati Sauda Nampiima n'emikwano baagenze mu ofiisi ya Nakiwala ne bamuyitiramu ebiri ewa Muzaata.
Nakiwala n'agamba: byonna biyinza okulindako kyokka ekya Ssessanga okuggalirwa ebweru w'amaka ga kitaawe tekisobola kulinda.
Kwe kubakulembera okubazzaayo ng'ali n'abaserikale abamukuuma. Baayitidde ku poliisi e Kawempe n'ayita DPC n'amubuulira ensonga emututte. DPC yafunye kabangali n'assaako abaserikale ne boolekera ewa Muzaata.
Abaserikale abassibwawo okukuuma okulaba nga tewali abeerawo, baabakonkonye olwo DPC n'abawa ekiragiro okukkiriza Kluthum okuyingira amaka.
Amaka gaggyibwamu abantu bonna ne gasigala nga gakuumibwa poliisi okuva nga January 27. Ku luno Kluthum yali afunye ekiragiro okuva ewa Administrator General nga kissiddwaako omukono gwa Madinah Nakibuule, ekimukkiriza (Kluthum) okuyingira amaka.
Hajjati Bugirita n'abooluganda lwa Muzaata baasitula olutalo nga bawakanya Kluthum okuyingira awaka era okukkakkanya embeera, DPC w'e Kawempe yabatuuza ne kisalwawo bonna amaka bagaamuke okutuusa ng'ensonga zaabwe zimulunguddwa mu mbuga z'amateeka.
Wiiki ewedde Muky. Nakibuule yayise aba ffamire ya Muzaata kyokka Kluthum teyabaddewo n'asazaamu ekiragiro kye yasooka okuwa Kluthum n'asuubiza okusalawo enkya ku Lwokuna ekirina okukolebwa.
Olutalo olwasooka, lwaliwo nga December 7, 2020 nga Muzaata yaakaziikibwa. Kluthum yafuna bakanyama n'agenda okweddiza amaka. Olutalo wakati wa bakanyama n'abaserikale abaaleetebwa Hajjati Bugirita n'aba ffamire ya Muzaata okukkakkana nga poliisi ekutte abamu ku bakanyama abaapangisibwa Kluthum.
Embeera bwe yakkakkana, Kluthum n'addayo ng'agamba nti omwana we Ssessanga talina w'asula ate ng'amaka ga kitaawe weegalim wabula ne bamugoba.
Muzaata we yafiira, Hajjati Bugirita baali baayawukana emyaka egisoba mu 20 egiyise. Ate Kluthum yali anobye. Kluthum agamba nti wadde yafunamu obutakkaanya ne Muzaata kyokka ye mukazi we kubanga baali tebaawukanye mu mateeka g'ensi oba ag'eddiini.
Mu ddiini Muzaata yalina okumutalaka. Ensonga za Muzaata zigulumbizza abantu be bukya afa. Abakulembeze b'e Kibuli okuli Mbuga Kassim Nakibinge Kakungulu baagezaako okuziyingiramu kyokka ne balemesebwa abafamire obutagoberera kuwabulwa.
Wednesday, February 24, 2021
▶️ Minisita Nakiwala azzizza Kluthum mu maka ga Muzaata
Popular Posts
-
HERBERT Twine (wakati) eyakuyimbira ennyimba nga 'Saabisaanira, Sibyakyama, Ompangudde ne Siryerabira ...
-
EGGWANGA we libeeredde mu muggalo, abantu babadde ku mudido gwa bibbala ng'omwav...
-
Police in Mubende district have launched a manhunt for Khalisiti Mutatina, who is accused of stabbing to death his wife's lover, Ignitio...
-
HAJJI Abdul Kiyimba, mmeeya wa Kyengera Town Council ayogedde ku butakkaanya bwe yal...
-
EMBEERA y'akabuga Lukaya ku luguudo lwa Kampala-Masaka ekyali ya kimpoowoze okuva omuggalo gwa Corona...
-
For over the past year, Dfcu bank has received criticism for being reluctant with data security after leakage of vital information like bank...
-
In many homes around Jebel Boma county, dinner consists of bitter-tasting leaves that can be picked off the bushes outside. The leaves are...
-
ABATUUZE okuva mu byalo 10 ebikola omuluka gw'e Kasubi beeyiye mu bungi ku ssom...