Friday, March 12, 2021

▶️ Aba Masaka City balabudde abazimbye mu ntobazzi

▶️   Aba Masaka City balabudde abazimbye mu ntobazzi

ABAKULEMBEZE b'ekibuga Masaka ku ludda olw'ebyobufuzi n'olw'ekikugu balabudde abantu abongera okwesenza mu ntobazzi eziri mu kibuga kino nti, tebagenda kulonzalonza okweyambisa amateeka okubasengula mu bifo bino okutaasa obutonde bw'ensi.

Baakulembeddwa akulira abakozi John Behangaana mu nsisinkano n'abakungu okuva mu minisitule y'amazzi n'obutonde bw'ensi mu kitongole ekivunaanyizibwa ku ntobazzi bwe baabadde batongoza kaweefube w'okusuumusa ekibuga kino okutuuka ku mutendera gw'ebyo ebirina entobazzi ez'enkizo ezirina okukuumibwa ku mutendera gw'ensi yonna.

Behangaana agamba nti oluvannyuma lwa Masaka okufuuka City, abantu bangi abatandise okuzimba mu ntobazzi kyokka nga kye bakola bakosa butonde bwa nsi. Yagambye nti, entobazzi olwa

Nabajjuzi ne Nakayiba zivaamu amazzi ageeyambisibwa abantu mu kibuga. Yayongeddeko nti, kyokka waliwo abakozesa amazzi gano nga batunuulidde kimu kya kufuna ssente ate abalala basuulamu buli kye basanze nga tebafuddeeyo kukuuma butonde n'obutayonoona ntobazzi zino.



Mmeeya wa Masaka City, Godfrey Kayemba yalaze okwennyamira olw'akasoobo akakozeseddwa mu kusazaaamu ebyapa ebiri mu bifo nga bino ekikonzibizza

kaweefube waabwe okubikuuma ate nga tebalina buyinza kubisazaamu kubanga kiyinza okubaviirako okutwalibwa mu kkooti.

Ye Martin Kigozi avunaanyizibwa ku kuteekerateekera ekibuga kino, yagambye nti ebyapa bingi ebiri mu ntobazzi zino n'asaba abakungu ba minisitule y'obutonde bw'ensi okukwatagna n'ey'ettaka okubawa ebiwandiiko bye beetaaga okuzuula entobazzi mwe biri, ddi lwe byafunibwa olwo bamanye ekiddako.

Vincent Barugahare avunaanyizibwa ku kukuuma entobazzi mu minisitule, yasabye abakulembeze beetegereze ebyapa ebiri mu ntobazzi nga tebannasaba kubisazaamu kubanga waliwo ebyafunibwa mu mateeka.

Yayongeddeko nti waliwo ebyapa ebya liizi nga biri mu ntobazzi n'abalagira bawandiikire minisitule y'ebyettaka bino bireme kuzzibwa buggya nga biweddeko.

Yagambye nti e Masaka bagezezzaako okukuuma entobazzi eziri mu kibuga n'asaba abavunaanyizibwa okukola ku biwandiiko bino mu budde okusobola okuganyulwa nga bafuna ensimbi z'okukuuma obutonde bw'ensi, okukolagana n'ebibuga ebirimu entobazzi kyokka nga bazikuumye bulungi nnyo okwawukanako n'eziri mu Uganda.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts