Bya KIZITO MUSOKE ABABAKA ba Palamenti basembye abasika batandike kusikira musaayi gwokka nga tebavunaanyizibwa ku byabugagga. Ekirala baagala abakazi abatali batongole nabo bagabane ku mmaali y'omugenzi. Bino biri mu tteeka ly'obusika erya, Succession (Amendment) Bill, 2018 eryazzeemu okwanjulwa omulundi ogwokubiri mu Palamenti.
Etteeka lino lyasooka kwanjulwa mu Palamenti nga November 2018 oluvannyuma ne liweerezebwa mu kakiiko akakola ku by'amateeka okulyekenneenya. Abaakakiiko k'ebyamateeka akakulirwa, Jaccob Oboth baayisizza akawaayiro akakkaatiriza nti, omusika alina kusikira musaayi sso ssi mmaali oba ebintu by'omugenzi.
Ababaka baagambye nti, okubeera omusika tekiwa muntu nkizo ya kwekomya mmaali ya mugenzi okuggyako ng'etteeka limuwadde obuyinza. Akakiiko kaasabye Gavumenti ekole ennongoosereza mu tteeka erigabanya ebyobugagga eri abakazi abatali batongole.
Ababaka bagamba nti abakazi bangi mu Uganda balemwa okufuna ku byobugagga olw'okuba nga tebali mu bufumbo butongole, kyokka nga bamaze emyaka mu bufumbo. Ku bantu abalina abakazi abangi, balina okugabanyizibwa mu byobugagga okusinga okulowooza nti omukazi omu yekka y'ali mu mateeka.
Kino kibadde kikosa abenzikiriza ya Kristo abawasa abakazi abangi. Abasiraamu balina okulekebwa balamulwe etteeka lya Sharia kuba engabanya y'ebyobugagga yalamulwa dda. Okugeza omukyala afuna ekitundu kimu kya munaana ku by'obugagga ate omwana omulenzi afuna ebintu ebikubisaamu eby'omuwala emirundi ebiri. Kyokka Omusiraamu asobola okusalawo okulamulwa amateeka g'ensi.
Ssinga omuntu afa nga talese kiraamo, nnamwandu y'ajja okusinzanga omugabo omunene ku by'obugagga bya bba ng'afuna ebitundu 50 ku buli 100. Abaana bajja kufuna ebitundu 41 ku buli 100 ate abooluganda abalala omugenzi be yali alabirira bagabane ebitundu 9 ebiba bisigaddewo. Ebyobugagga omufumbo by'anaabanga nabyo nga tannafumbirwa tebijja kubeeranga byabwe ng'abafumbo.
Kyokka era omufumbo ssekinoomu ne bwe baba bamaze okufumbiriganwa abeera wa ddembe okubeera n'ekyobugagga kye omu yekka. Amaka amatongole ag'abafumbo galina kusigala nga gavunaanyizibwako nnamwandu n'abaana bonna ababa basigadde. Etteeka ekkadde libadde liwa abasika obwannannyini n'okusalawo abantu abalina okubeerawo.
Babadde bakozesa omukisa guno okugobaganya bannamwandu. Ebyobugagga bijja kugabanyizibwa mu ngeri za njawulo; Omusajja bw'ataleka mukazi, abaana be batwala ebyobugagga byonna. Singa omusajja afa nga talese mwana, olwo omukyala atwala ebitundu 80 ku buli 100 ku byobugagga ate abooluganda abalala omugenzi b'abadde alabirira ne bagabana ebitundu 20 ku buli 100.
Kyokka omukyala asobola okutBadiru Masiira; Amateeka agakolebwa si mabi naye abagakola bateekwa okulowooza ku mbeera abantu mwe bawangaalira. Omukazi bw'atwala ebitundu 50/100, abaana kumpi baba basigadde mu bbanga. Bye bagambye Sarah Namutebi; Omusika kituufu asikire musaayi so ssi bintu bya mufu kubanga abasika babadde banyigiriza nnyo bannamwandu n'abamu ne babatundira mu mayumba.
Yahaya Sserwadda; Etteeka eryo lya kuleetera abakazi okutumanyiira kubanga bw'ogamba nti bwe nfa ne sireka kiraamo omukazi w'omu maka atwala 50/100 sikkiriziganya nakyo. wala ebyobugagga byonna singa bba taleka mwana ate nga taliiko muntu gw'abadde alabirira.
Singa kizuulibwa ng'omuntu yafa nga talese mukazi, mwana wadde omuntu gw'alabirira nga teyakola kiraamo, ebyobugagga bye bijja kutwalibwanga Ofiisi ya Gavumenti ekola ku nsonga z'abafu.