Bya Alice Namutebi
EMBIRANYE wakati wa Fred Nyanzi amanyiddwa nga Chairman Nyanzi n'omubaka Muhammad Nsereko bwe baavuganya ku kifo ky'omubaka wa Kampala Central, ezzeemu buto, Nyanzi bw'azzeeyo mu kkooti.
Nyanzi awawaabidde Nsereko mu kkooti Enkulu mw'asabidde nti, ye gw'eba erangirira ku buwanguzi bw'ekifo ky'omubaka wa Kampala Central mu kifo kya Nsereko nga kino bwe kiba tekisobose, kkooti eragire okulonda kuddibwemu.
Alumiriza Nsereko okugulirira abalonzi, okwekobaana n'abaakakiiko k'ebyokulonda ne babba obululu bwe n'okukola emivuyo mu kulonda. Mu bujulizi bw'aleese mu kkooti, Nyanzi awakanya ebyalangirirwa nti, Nsereko yamusinga obululu 1,023, era naye aleese obujulizi obubwe nga bulaga obululu bwe yafuna mu buli kifo awaalonderwa okujungulula ebyalangirirwa ab'akakiiko k'ebyokulonda.
Nsereko (Independent) yawangula n'obululu 16,998 ate Nyanzi (NUP) n'afuna obululu 15,975.
Nyanzi yannyonnyodde nti, yageraageranyizza empapula okuwandiikibwa obululu (DR forms) ez'abayambi be n'ebyo akakiiko k'ebyokulonda bye kaalangirira nga tebikwatagana y'ensonga lwaki yagezaako okusaba kkooti e Mengo baddemu okubala obululu naye omulamuzi Esther Nasambu n'agaana.
Nyanzi agamba nti, akulira ebyokulonda teyannyonnyola lwaki yakyusa obululu mu bifo bino ku lupapula olusembayo lwe yasoma y'ensonga lwaki Nsereko baamwongera obululu 1,023 ng'ate tebwali bubwe.