BYA MARGRET ZALWANGO
ABAGAMBIBWA okulumba amaka g'omukozi wa bbanka nga bakozesa emmundu basimbiddwa mu kkooti y'amagye omu nakkiriza omusango. Kigambibwa nti nga October 10, 2019 abazigu ab'emmundu baalumba amaka ga Allan Mwesigwa omukozi mu bbanka ya Equity ne banyaga ebintu nga bakozesa eryanyi ly'emmundu.
Abawawaabirwa kuliko: David Mawanda 30, omuzimbi ng'abeera Kawuku mu Katabi Town Council e Wakiso ne Gerald Nsubuga 20, nga naye muzimbi era omutuuze w'e Kitala mu Katabi. Bano bavunaaniddwa ne Ronald Karusha 20 kyokka ye yakkirizza omusango ogubasomeddwa nti ddala yaguzza era yeenyigira mu kulumba n'okubba amaka ga Mwesigwa e Bwebajja.
Oludda oluwaabi lugamba nti mu kiro ekya October 10, 2019 , bano ne bannaabwe abalala abadduka nga bakozesa emmundu ekika kya SMG nnamba UG-PSO 5653402715-07503 baalumba amaka ga Mwesigwa ne babba ttivvi ekika kya flat screen bbiri, essimu bbiri, kaadi za bbanka ya Equity bbiri , ekyuma ekizannya ennyimba ekya DVD , paasipoti z'abaana ssaako emizindaalo.
Mu maka ga Mwesigwa ababbi baasangamu omukozi ne bamuteeka ku mudumu gw'emmundu olwo ne batandiika okufuuza ennyumba ne batwala buli kye baali baagala wabula temwali ssente nkalu.
Poliisi ng'eyambibwako aba Flying Squard baatandika omuyiggo ne bakwata Nsubuga oluvannyuma n'abatwala mu bitundu by'e Kawuku ne Kitara ne bazuulayo emmundu bbiri, ttivvi , ebijambiya, embazzi , obusawo bw'abakyala, engoye n'ebyokwewunda by'abakazi ssaako ebissi ebirala.
Mu kkooti Nsubuga ne Mawanda beeganye okubaako kye bamanyi ku musango ogubavunaanibwa oludda oluwaabi ne lutegeeza nti okunoonyereza kukyagenda mu maaso ne basaba batwalibwe e Kitalya okutuusa nga March 15, ate Karusha wakuzzibwa mu kkooti nga March 9, okuwulira mu bufunze ebikwata ku musango.