Bya Ali Wasswa
Minisitule y'eby'ettaka n'okuteekerateekera ebibuga bafulumizza enteekateeka empya ey'okuzimba mu bibuga. Bategeezezza nti omuntu alina poloti eteweza ffuuti 50 ku 100 tebagenda kumuwa pulaani wadde okumukkiriza okugizimbamu.
Era baalagidde abazimba okulekawo amakubo, oluggya lwonna obutalusibaamu pevaazi oba okuluyiwa enkokoto nga kati tteeka okulekawo ekitundu w'osimba omuddo.
Bino byayogeddwa omwogezi w'ekitongole ekikola ku by'okuteekerateekera ebibuga mu minisitule y'ebyettaka n'okukulaakulanya ebibuga, Dennis Obbo. Yabadde asisinkanye abakulembeze ba Mbarara City omwabadde: Town Clerk, Theo Tibiika ne Mmeeya Robert Kakyebezi wamu n'abakakiiko ka Mbarara City Development Agency nga bakulembeddwa Martin Kananura .
Obbo yategeezezza nti minisitule y'ebyettaka ng'eri wamu ne minisitule ya Gavumenti ez'ebitundu nga bayita mu nkola ya USMID basazeewo okutendeka abakulembeze mu bibuga ebyakasuumuzibwa okutuuka ku ddaala lya City okwewala ebibuga bino okufuna obuzibu mu maaso nga Kampala bw'ali kati.
Obbo yagambye nti mu kiseera kino okufuna amakubo amatuufu mu Kampala balina kumenya mayumba g'abantu ekintu ekikaluubiriza abamu obulamu. Town Clerk yategeezezza nti abantu bonna abazimba balina okubeera ne pulaani eyisiddwa.
Source