ABAJAASI ba UPDF 50 baagudde ku kabenje ne bafuna ebisago eby'amaanyi. Akabenje kaagudde Nabiswa ku luguudo oluva e Mbale okudda e Iganga.
Omwogezi w'amagye mu bitundu bya Bukedi ne Bugisu, Lt. Jude Wandera yategeezezza nti kaavudde ku mugoba wa Prado nnamba UBC 391D eyayingiridde loole y'amagye Tata nnamba H4DF 2318 okwabadde Mbale abajaasi abaazirwanako abaawummuzibwa naye ne bayitibwa okwegatta ku ggye lya UPDF e Somalia.
Wandera agamba nti akabenja baakafunye bagenda Ssingo mu ttendekero ly'amagye bongere okubangulwa, 21 baamenyese emikono abamu amagulu n'abalala ne bafuna ebisago ebitonotono. Bajjanjabirwa mu ddwaaliro e Mbale. Ddereeva wa Prado yadduse era bamunoonya.