Bya Mukasa Kivumbi ABASAJJA basatu abateeberezebwa okubeera ababbi b'ente baakiguddeko bwe beesanze ng'ekkubo lye babadde bakutte nga ne poliisi w'ebadde ekolera egyayo.
Poliisi yabeekengedde n'ebayimiriza olwo nabo ne badduka ekyawalirizza poliisi okubasimbako ne bavuga nga badda mu byalo poliisi n'eyongera okubagoba. Baalabye ebafunza kwe kusimba mmotoka ne bagivaamu ne badduka.
Abaserikale beekebezze mmotoka ne basangamu ente eyabadde esibiddwa emiguwa wamu n'embuzi. Abaserikale mmotoka baagitutte ku Poliisi y'e Lugazi gy'ekuumirwa n'ente n'embuzi. Abapoliisi baagambye nti mmotoka eno yabasanze Bulyanteete ku luguudo oluva e Lugazi okudda e Jinja nga bali ku byabwe ne basooka okugiraba ng'eva mu luguudo oluva mu bikajjo n'esooka okuyimirira wabula oluvannyuma ne basimbula.
Baagambye nti mmotoka baagiyimirizza n'esooka okulaga nti eyimirira oluvannyuma n'esimbula nabo kwe kusalawo okugigoba.