Abasawo b'ekinnansi wansi w'ekibiina kyabwe ekya Uganda n'Eddagala Lyaayo bayozaayozezza pulezidenti Museveni okuwangula akalulu akaaliwo nga January 14 era ne bamusiima okubasembeza ku mwanjo mu ggwanga.
Pulezidenti w' ekibiina kino, Ssalongo Kalim Walyabira yategeezezza nti okuwangula kwa pulezidenti Museveni kwatuuka n'okubasitula okubatwala ku nsozi bakowoole emisambwa nga bamusabira obuwanguzi n'abutuukako bwe batyo ne beeyama okutwala mu maaso emirimu egyabakwasibwa gavumenti omuli okulwanyisa ekisaddaaka bantu, okukuuma obutonde bwensi, okuwandiisa abasawo b'ekinnansi bonna n'okusunsulamu abakyamu n'ebirala.
Walyabira okwogera bino yabadde ku Royal Motel e Kasubi ku mukolo kwe yayanjulidde olukiiko lwe olujjuvu olw'ekibiina lw'agenda okukulembera nalwo nga ku baalangiriddwa kwabaddeko Peter Ojwani omumyuka, Tenywa Lubale wa mpisa, Kayizi Bahingana mwogezi, Sarah Babumba ssaabawandiisi, Abas Mutyaba, Ezera Gabula wa bya butondebwansi,Geoffrey Kayizi Bahingana mwogezi, Hajjia Abdul Nadduli ku ky'obuyima bw'ekibiina n'abalala.
Eyalondeddwa ku ky'obumyuka, Peter Ojuk yagambye nti baakutandikirawo okukola emirimu naddala okulwanyisa abo abeeyita kye batali era n'alabula ababadde beenyigira mu bikolwa ebikyamu ng'okusaddaaka abantu n'abasawo abatalina biwandiiko bibakkiriza kukola mirimu gya busawo n'alabula okubakwata bakangavvulwe.
Bano basabye ekitongole ekirondoola ebiwerezebwa ku mpewo ekya UCC kiveeyo kyongere amaanyi mu kulondoola abantu abeeranga ku mikutu gy'amawulire era ne balabula maama Phina ne ssenga Kulanama okukomya okukyessaako nti be bakulembeze babwe