Tuesday, March 23, 2021

Ab'e Kamuli basanyukidde amazzi amayonjo

Ab'e Kamuli basanyukidde amazzi amayonjo

ABANTU b'e Kamuli mu Busoga basanyukidde ekya gavumenti okubazimbira Nayikondo ne bafuna amazzi amayonjo oluvannyuma lw'okulaajanira ebbanga.

Okuyita mu Sipiika Rebecca Kadaga abantu b'e Kiige-Bugaga,mu ggombolola y'e Kagumba mu disitulikiti y'e Kamuli baafunye naikondo ne bawona okusena mu kidiba ente mwe zinywera.

Ssentebe w'ekyalo Ssalongo Meddie, agamba nti bamaze ekiseera nga balaajana okutuusa Katonda lwe yayanukudde essaala zabwe ng'ayita mu Mubaka omukyala owa Kamuli era Sipiika Kadaga.

"Kino kye kirabo ekikyaasinze obunene bukyanga Kadaga atusakira. Amazzi bwe bulamu ekitegeeza nti obuwangaazi bwaffe abwongeddeko," Meddie bweyagambye.

Bano, amazzi babadde bagasena mu kidiba ekiri mu bitoogo by'olubamala lw'Omugga Kiyira nga bagagabana n'ente.

 

                                                                                Omukyala ng'akozesa amazzi amacaafu okwoza engoye gyebuvuddeko nga tebannabakolera Naikondo

ABATAKA B'ASANYUKIDDE NAYIKONDO

Moses Nabeta, 60,: Nazaalibwa ku kyalo Kiige-Bugaga naye mbadde sirabanga nayikondo esundibwa  n'evaamu amazzi aganywebwa abantu.

Alima Magoba, owabakyala e Kiige-Bugaga, yagambye nti olw'okuba amazzi gabadde ku kyalo eky'e Bugobi eky'essudde km bbiri abaana  naddala abawala babadde badda kiro ekiviiriddeko abamu okufuna embuto.

Ng'gyeeko Kiige-Bugaga, ekyalo Busongole  ekikiraanye nga kiriko amaka nga  500,  be batuuze nga 1,200, tekirina naikondo, okusinziirira ku ssentebe  Fred Luvongo.

Okusinziirira ku David Bandese, omu ku baddukanya polojekiti z'okutuusa amazzi ku bantu, ebiwandiiko biraga nti wonna omuggatte  nayikondo ezirina okusimibwa mu bitundu bya Kamuli ziri 90.

 

 

ABAKUNGU B'ENSONGA Z'AMAZZI B'OGGEDDE

Okusinziira ku Ying Joel Kaliisa,  ng'ono y'amyuka Ofiisa w'eby'amazzi ku disitulikiti y'e Kamuli, abantu ebitundu 67.3  ku buli 100 bye birina amazzi amayonjo,  33.7  bikyabanja.

Kaliisa yanyonyodde nti wetwogerera, ebitundu 65 ku 100 byokka bye birina amazzi amayonjo, 35 ku 100 abasigadde bakyabonaabona n'amazzi.

Sssentebe wa LC5 e Kamuli, Tomas Ndimukika Kategere, yagambye nti okusomoozebwa kwebalina tebafuna sente zimala kutambuza nteekateeka zebalina.

Sente zebafuna osanga zisobola okusima nayikondo wakati wa 15 ne 15 omwaka omulamba kyokka ng'ebyalo ebyetaaga biri 30

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts