Tuesday, March 23, 2021

Gavumenti yeddizza omusango gwa Male Mabiriizi

Gavumenti yeddizza omusango gwa Male Mabiriizi

OMUWAABI w'emisango gya gavumenti yeddizza omusango munnamateeka Male Mabiriizi gwe yawawaabidde Ssabalamuzi Alfonse Owinyi Dollo ku kkooti ya Buganda road.

Eggulo Mabiriizi yatutte omusango ku kkooti eno ng'avunaana Dollo okutyoboola Omulamuzi Esther Kisaakye n'okutyoboola ekitiibwa kya kkooti.

Olwaleero ofiisi y'omuwaabi wa gavumenti ewandiikidde kkooti ebbaluwa eriko omukono gwa Joan Keko ne bategeeza nti nga bwe kirambikibwa mu nnyingo 120(3) (c) n'akawaayiro 43(1)(a) omuwaabi wa gavumenti akkirizibwa okweddiza omusango ekika kino.

Mabiriizi olusomye ebbaluwa eno naye n'ayanukulirawo n'ategeeza kkooti nti mu musango munnamateeka Bob Kasango gwe yaloopa mu kkooti etaputa ssemateeka ogwasaliddwa wiiki ewedde, kimanye mateeka Omulamuzi okuweewa ofiisi y'omuwaabi wa gavumenti nga tasoose kulekulira.

Wano waasinzidde n'agamba nti mu kiseera kino nga yeesigama ku nsala eno, Omulamuzi Jane Francis Abodo tabalibwa nga muwaabi wa gavumenti era ofiisi eyo ebalibwa nti nkalu.

Sabye kkooti egende mu maaso ewulire okusaba kwe, eyise mangu ekiragiro okukwata Owinyi Dollo kubanga ye yawawaaabidde muntu so si ofiisi ya Ssabalamuzi nga bwe bakiraga mu bbaluwa.

Mabiriizi omusango yagututteyo nga yeesigama ku tteeka erifuga emisango egy'ebibonerezo (Penal Code Act) akawaayiro 107 (1) (a) mu nnyingo 120.

Mu kirayiro ky'ataddeyo okuwagira omusango agamba nti nga March 17 yabadde agenze ku kkooti okufuna ensala mu kusaba kwe yateekayo ng'asaba Dollo ave mu musango Kyagulanyi gwe yawawaabira Museveni,  akakiiko k'ebyokulonda ne Arttoney General.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts