Bya MOSES LEMISA ABAKristaayo b'ekkanisa ya St. Stephen e Mpererwe n'abatuuze b'omu kitundu kino batandise kaweefube w'okusonda ssente z'okuzimba eddwaaliro ery'omulembe mu kitundu.
Eddwaliro lino baabaliridde nga lyakumalawo obuwumbi 16 era wiiki ewedde baatongozza kaweefube w'okusonda ssente ng'omukolo gwabadde mu maka ga Rev. Dr. Polof. Sam Luboga 73 e Mpererwe Nammere mu munisipaali y'e Kawempe.
Dr. Luboga omu ku baatandika okuzimba eddwaaliro lya St. Stephen e Mpererwe mu 1987 yagambye nti lyazimbibwa ku musingi gwa Bukulisitaayo nga baasooka kuzimbawo kasenge kamu oluvannyuma omugenzi Namasole Bagalayazze yabawa ettaka lya yiika 2 ne baligaziya kyokka olw'obwetaavu obuliwo olw'abantu abangi, we yafunidde ekirowoozo ky'okuzimba eddwaaliro ery'omulembe.
Yagambye nti omwaka oguwedde mu March, ensi bwe yalumbibwa ekirwadde kya COVID -19, Gavumenti yayimiriza abasawo abakadde okuddamu okujjanjaba. Wano we yatandikira ne mukyala we Christine Luboga, okuddukanga, nga buli kiromita emu babadde bagisasulira 1,000/- nga buli lunaku babadde badduka kiromita 10 okumala omwaka mulamba era ssente ze babadde basonda zaavuddemu 4,020,000/- nga ceeke baagikwasizza abaddukanya eddwaaliro lino.
Yagambye nti bwe kiba kya kuzimba ddwaaliro eriyamba abantu tekiriiko kusosola mu ddiini, we yasabidde Abasiraamu, Abalokole, Abakatoliki n'abalala okubakwatizaako. Yagambye nti eddwaaliro eppya ligenda kubaako ekifo we balongooseza, abasawo we basula, we bakuumira abaana abazaaliddwa nga tebannatuuka, abakazi we bazaalira n'ekifo awagenda okuba ebyuma eby'omulembe.
Yagasseeko nti gye buvuddeko beewola ssente ne bagulayo yiika y'ettaka endala nga kati balina yiika 3. Abeetabye ku mukolo beeyamye ssente n'okukubaganya ebirowoozo, engeri gye banaafunamu ssente. Omukolo gwetabyeko abagenyi ab'enjawulo okwabadde ne Elijah Sekiziyivu, omubuulizi w'ekkanisa ya St. Stephen e Mpererwe.
Source