Thursday, March 25, 2021

Balaze ekyama ekiri mu bisambi ebinene

Balaze ekyama ekiri  mu bisambi ebinene

Bya Musasi waffe

Abawala abamu abalina ebisambi ebinene babyevuma olw'okulemwa okugya mu mpale naddala eza jjiini, era oluusi abagezaako tebanyuma nga bwe kiba ku bannaabwe ab'obusambi obutono.

Wabula bannassaayansi bazudde nti ebisambi ebinene biyamba mu kutangira endwadde naddala ezireetebwa okuzibikira emisuwa egitambuza omusaayi.

Okunoonyereza okwakolebwa ku bakazi n'abasajja 2,816 abali wakati w'emyaka 35 ne 65 okuva e Bungereza mu myaka 12 kwazuula ebisambi ebinene bitangira omuntu okufuna endwadde z'omutima, kkansa, okusannyalala n'endala.

Bagamba nti ebisambi bye bassaako essira bye biweza obugazi bwa sentimita 62 nga bapina ekisambi we kyegattira ku kabina.

Bano bagamba nti okunoonyereza baakakola kwa mulundi gumu, era tekulaga oba ng'ekitangira endwadde kiva ku binywa ebiba mu bisambi bino, amasavu oba byombi. Wabula bagamba nti, ekituufu kiri nti amasavu agasangibwa wansi okusukka ekiwato tegaba gaabulabe nnyo bwe gageraageranyizibwa n'agasangibwa mu lubuto n'ekitundu ky'omubiri ekyawaggulu.

Bano era bagamba nti eno yandiba emu ku nsonga lwaki abakazi bawangaala nnyo okusinga abasajja, kubanga bo (abakazi) balina amasavu n'ebinywa  wansi( ebisambi n'akabina) so ng'abasajja bagejja embuto n'ekifuba, ekibassa mu katyabaga k'okulwala endwadde z'omutima n'endala ezizibikira emisuwa egitambuza omusaayi.

Ggwe kyama ki ky'omanyi ku bisambi ebinene??

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts