
AKULIRA akabinja ka Team No Fear mu Kawempe bamukubye amasasi nga kigambibwa nti yabbye essimu mu kalipagano k'ebidduka nga tategedde nti gwe yagibbyeko yabadde n'emmundu.
Twaha Nsubuga kigambibwa nti y'omu ku bamenyi b'amateeka aboolulango mu Kawempe nga poliisi y'oku Kaleerwe egamba y'omu ku bakulira akabinja ka bamenyi b'amateeka kano nga kasinga kutigomya Kampala okusinga Kawempe .
Stephen Kavuma ssentebe wa Good Hope Zooni e Makerere Kavule yakakasizza nti Nsubuga yakulira ekibinja kya Team No Fear ng'abaana abali mu kibinja kino nzaalwa za mu kitundu nga bava mu Ssebina Zooni ,Dobi , Kiggundu , Good Hope , Mayinja nga batigomya abantu mu Kampala.
Era nga ne Kawempe balina ne nguudo kwe bategeera abantu .
Yagasseeko ku Lwokumukaaga ekiro ssaawa 2:00 ku luguudo lwa Bombo Road e Makerere Kavule wabaaddewo akalipagano k'ebidduka Nsubuga n'ekibinja kye balina omusajja eyabadde mu mmotoka gwe baanyakuddeko essimu ne badduka era ono yavudde mmotoka n'agireka mu luguudo wakati n'abalondoola n'akwatako Nsubuga gwe yakubye amasasi mu kugulu.
Omwogezi wa Kampala n'emiraano Luke Oweyesigyire yakasizza amawulire gano n'agamba nti guno mulundi gwa kubiri nga Nsubuga akubwa amasasi ng'omulundi ogwasooka baamukubira Bwaise era abadde anoonyezebwa ku by'okutigomya abantu mu Kampala.
Mu kiseera kino Nsubuga ajjanjabirwa mu ddwaaliro e Mulago ku mpingu era oluvannyuma waakutwalibwa mu kkooti avunaanibwe omusango gw'obubbi.
Yagambye eyakubye Nsubuga amasasi tannamanyika.