ABAFFAMIRE ya John Pombe Magufuli batankana enfa ye era basabye Gavumenti esseewo akakiiko okuzuula ekituufu ekyamusse.
Nnamwandu wa Magufuli, Janeth naye alinnye mu kyoto nti engeri gye yayisiddwaamu
nga bba mulwadde eranga nga wandibaawo ebibikkkirirwa kubanga naye yennyini
baamugaanyi okumulaba n'okumujjanjaba mu ddwaaliro.
Bangi ku banene e Tanzania okuli abeekibiina kya Chama Cha Mapinduzi (CCM) nabo batankana enfa ya Magufuli ne bawagira eky'okubuuliriza okumanya ekituufu.
Ekiwandiiko ekitongole ekya Gavumenti kyategeezezza nti yafudde mutima. Kyokka
waliwo ebigambibwa nti yafudde corona. Bino okubaawo nga Magufuli aliko abamulwanyisa olw'okubasuuza "ddiiru".
Bano kuliko amakampuni g'abagagga gaagobye mu Tanzania olw'okukola obubi
enguudo n'emirimu emirala; aliko olutalo n'Abazungu olwatandika nga yaakalya
obwaminisita ng'abalumiriza okunyaga ebyobugagga bya Tanzania, okunyunyuunta Abatanzania n'okukola emirimu "gadibengalye".
Aliko n'ababadde bamulwanyisa okuli abanene b'azze agoba n'abamu okubasiba
olw'okulya enguzi. Ate bukya corona alangirirwa mu March 2020, Magufuli abadde mu lutalo n'amakampuni agakola eddagala n'ebitongole by'ensi yonna ebimulaba ng'awubisa abantu ng'alaga nti corona taliiyo akozesebwa kufunamu ssente.
Abawagira Magufuli balowooza nti olutalo lwa corona yabadde tayinza kuluyitako olw'obuwumbi bwa ddoola eziri mu bya corona.
Y'ensonga lwaki bwe baalangiridde nti afudde mutima ate abakola eddagala lya corona n'ebitongole ebirwanyisa obulwadde obwo byongedde maanyi mu kulaga nti "corona gy'ali. Yasse ne Magufuli".
Abaffamire baagambye nti obulwadde bw'omutima tebutta mu ngeri ya kibwatukira. Kyasobose kitya Gavumenti okulangirira nti Magufuli mulamu tteke ate ne wayitawo ennaku bbiri zokka ne bamubika ng'afudde?
Muky. Suluhu, kati eyafuuse Pulezidenti wa Tanzania yasoose kutegeeza nti Magufuli
yafudde bulwadde bwa mutima ku Lwokusatu, mu ddwaaliro lya Emilio Mzena Memorial Hospital Dar es Salaam.
Omu ku booluganda eyagambye nti Magufuli kitaawe omuto yategeezezza
omukutu gw'amawulire ogwa ‘Nipashe' nti Gavumenti eteekwa okunnyonnyola ekyasse
Pulezidenti kubanga Katikkiro Kassim Majaliwa abadde yaakamala okukakasa eggwanga nti Magufuli talina wamuluma. Akola emirimu gye, kyokka ate afa atya
amangu ago?
Owa ffamire omulala yategeezezza olupapula lwa ‘Majira', nti tewali kubuusabuusa, abalabe ba Magufuli abali mu Gavumenti be baaluse olukwe olw'okutta Magufuli.
N'agamba nti abaamusse bagenda kubategeera kubanga mu kika kyabwe, omusaayi
gwabwe teguyiikira bwereere.
Bannansi ba Tanzania nga bayita ku mikutu gya ‘social media' baalaze okubuusabuusa ku kyasse Magufuli nga babuuza nti, lwaki Gavumenti eraze obukwambwe mu kukwata ababadde boogera nti Magufuli mulwadde?
Akulira oludda oluvuganya Gavumenti, Tundu Lissu eyavuganyizza Mafuguli mu kalulu ka October 2020 kyokka nga kati yeewangangusiza e Belgium yatadde obubaka ku mukutu gwa Twitter ne Facebook obwayongedde okutabula abantu bwe yalumirizza nti, Magufuli yafudde corona era ng'abadde yafa dda.
Gavumenti okulwawo okumubika yabadde eteekateeka bantu n'okuwa obulwadde
"obukkirizika" kwe kukkaanya ku bw'omutima kubanga Magufuli abadde mulwadde wa mutima okumala ebbanga.
"Magufuli yafa corona. Abadde tayambala masiki ate nga ne bw'amanya abamuli ku lusegere nga balwadde corona abadde ababeera kumpi okwewala okutiisa abantu be yalimba edda nti teri corona", bwe yagambye.
Magufuli yakoma okulabika mu bantu nga February 27, 2021. Magufuli yali yalangirira nga bwe baagoba corona e Tanzania omwaka oguwedde nga bayita mu kusaba okw'enjawulo kw'ennaku essatu.
Magufuli abadde talima kambugu na Bazungu. Abadde abalaga bw'atabeeguya. Yagaana n'okulinnya mu Bulaaya okuva lwe yalya Obwapulezidenti. Kino akituukirizza abadde akoma kutambula mu Afrika.
Omukago gwa Bulaaya gwatuuka n'okuggyayo omubaka waagwo mu Tanzania nga bagamba nti ebikolwa by'okulinnyirira eddembe ly'obuntu byali biyitiridde. Baawakanya engeri abaseegu gye baali bayigganyizibwamu.
Magufuli yagaana okwetaba mu lukiiko lw'Amawanga Amagatte (UN) olwali e New York mu Amerika mu 2018. Bwe yabuuzibwa ekyali kimugaanye, yagamba nti yali asindise minisita we ow'ensonga ezeebweru ng'agamba nti, yali amukiikiridde bulungi nga kitaasizza n'ensimbi ennyingi ezandikozeseddwa ng'agenze kuba atambula n'abantu bangi.
Lipooti eyafulumizibwa ekibiina ky'Amawanga Amagatte mu November w'omwaka oguwedde ng'eraga nti e Tanzania baali basukkiridde okulinnyirira eddembe ly'obuntu, Magufuli yabiwakanya n'asaba abantu bakole mirimu gyabwe ebya lipooti babirabe nga kirokitwala omunaku.
Magufuli yayongera okulaga nti takyetaaga Bazungu bwe yawera abakozi ba Gavumenti okuddamu okutambula ebweru w'eggwanga ng'agamba nti kyali kyonoona ssente y'omuwi w'omusolo.
Okumala ebbanga abadde tayagala nkola ya Bazungu kukolokota Gavumenti ye era mu 2017 yagoba Awa Dabo eyali omubaka w'ekitongole ky'ekibiina ky'Amawanga Amagatte ekya United Nations Development Programme (UNDP). ng'amulanga kweyingiza mu nsonga za munda mu ggwanga ze yagamba nti yali ayise w'alina okukoma.
Bbanka y'ensi yonna n'omukago gwa Bulaaya baatuuka n''okuyimiriza okuwa Tanzania obuyambi bwonna nga bagamba nti ekikolwa ky'okugaana abayizi abawala abafunye embuto okusoma ekyali kiyisiddwa kyali kirinnyirira eddembe ly'obuntu.
Emirundi mingi Magufuli azze awakanya endagaano ez'enjawulo ezizze zikolebwa n'Abazungu ng'agamba teziganyula mawanga ga Baddugavu. Yawakanya endagaano ya Economic Partnershio Agreement eyali egendereddwaamu okutumbula ebyensubulagana wakati w'amawanga g'obuvanjuba bwa Africa n'omukago gwa Bulaaya.
Mu kiseera amawanga ga Africa we geewoleranga ssente okuva mu nsi z'Abazungu okulwanyisa ekirwadde kya corona, Magufuli yagaana okwewola ng'agamba nti tewali bwetaavu. Kuno kwe yagatta n'okugaana eddagala lyonna lye baali bakoze n'asalawo okwettanira eddagala ly'ekinnansi.
Amateeka gonna agaayisibwa ekitongole ky'ensi yonna ekivunaanyizibwa mu byobulamu ekya World Health Organisation agaalina okugobererwa olwa corona okuli; okunaaba mu ngalo, okwambala masiki, okwewa amabanga gonna Magufuli yagagaana ng'agamba tebyetaagisa.
Source