Wednesday, March 10, 2021

Arua Young yajja ne sipiidi n'esalwako mu buswavu

Arua Young yajja ne sipiidi n'esalwako mu buswavu

BANNABYAMIZANNYO naddala abagoberezi b'omupiira, batendereza empagira eyolesebwa abawagizi ba Onduparaka naddala mu kisaawe kyabwe ekya Betway Greenlight Stadium mu Arua.
Abaludde nga bagoberera omupiira gwa Uganda, naddala mu myaka gy'e 90, kino tekibeewuunyisa kubanga Arua Young, eyali esibuka mu Arua, yajojobya ttiimu kirimaanyi nga Villa, KCC ne Express mu kisaawe kyayo ekya Barifa Stadium.
ESUUMUSIBWA
Mu 1991, mu mpaka za Mini League, Arua Young yeesogga 'Super'. Mu kaweefube w'okwongera okwenyweza, abakungu baakansa omuteebi Charles Letti okuva mu BN United, David Kavule (KCC), Juma Kayinda (Uganda Airlines), Simon Simwogerere 'Ndi muloodi', Livingstone Kyobe, Julius Kibuuka ne Mohammed Ssebugwawo (Coffee), n'abalala.
Baagenda n'e Zaire (DR Congo) ne bakansa omuteebi Zazak Lingaya, Faustin Katongo ne Flourent Ngenu. Mu gumu ku mipiira egyewuunyisa abawagizi, Arua Young yalumba Express e Wankulukuku n'egikubira ggoolo 2-0. Sizoni ya 1992 yamalira mu kya 11 n'obubonero 22.
ESALAWO ATWALA EKIKOPO
Mu kitundu kya liigi ekyokubiri, ku kisaawe e Barifa, Express yakyalira Arua Young n'ebigendererwa bibiri (2); okwesasuza olw'okubakuba, n'okuwanula Villa gye bali babbinkana nayo ku kikopo, ku ntikko. Mu kiseera kye kimu, Villa yali ezannya Nsambya ku kisaawe kya Sharing.
Arua Young awaka yali yaakakubirwawo emipiira 2 gyokka (Miracle ne Nsambya 1-0 buli gumu). Mu kitundu ekyokubiri Robert Aloro, omuwuwuttanyi wa Express yaleka omuzibizi wa Arua, Alex Nubi ku ttaka n'akuba ekizungirizi mu ggoolo, ng'ebula eddakiika 5 omupiira okuggwa, n'awa ttiimu ye obuwanguzi.
E Kampala byali biwoobe na maziga, anti Nsambya yasuuza Villa obubonero, bwetyo Express n'esitukira mu kikopo kya liigi ya 1993. Arua Young yamalira mu kyamusanvu .
EGOBWA MU LIIGI
Okuviibwako abasambi ab'omuzinzi kwaginafuya era tekyewuunyisa bwe yasiba 'ekkira' n'esalwako mu 1994.
Mu 1995, yakomawo mu 'Super', wabula abavujjirizi ne baggyamu enta. Ensimbi zaatandika okugyekubya empi naddala mu by'entambula, era yazannyayo emipiira 4 n'egobwa mu liigi ng'eremereddwa okusamba egy'okubugenyi. Yaddamu okusuumuusibwa mu 1999 naye mu 2000 n'esarwako.
kigonyageorge13@gmail.com
0772832149.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts