Wednesday, March 10, 2021

Mulwanyammuli akunze Aboolugave okukulaakulanya obutaka

Mulwanyammuli akunze Aboolugave okukulaakulanya obutaka

Bya Godfrey Kigobero

NG'ABEEKIKA ky'Olugave bagenda mu maaso n'enteekateeka y'okukulaakulanya obutaka bwabwe e Sekiwunga Katende mu Mpigi, Katikkiro eyawummula, Mulwanyammuli Ssemwogerere ayongedde okukunga abazzukulu n'abantu ssekinnoomu abeetema, ssente okuzissa ku akawunti mu Centenary Bbanka ku nnamba 3100069341 eri mu mannya ga Lugave Clan Foundation Ltd.

Omwaka oguwedde, abeekika ky'Olugave baategeka ekijjulo mu kifo ky'omuyimbi Mesach Semakula e Makindye ne basonda ssente eziwerako n'abalala ne beetema ng'omugenyi omukulu yali Katikkiro, Charles Peter Mayiga.

[image_library_tag 98108be5-2664-40d8-9e52-57f9fabd32a0 703x466 alt="Joseph Mulwannyammuli Ssemwogerere (ku kkono) ng'ayanjula enteekateeka y'okuzimba n'okukulaakulanya obutaka bw'ekika e Katende-Mawokota. Akutte empapula (pulaani y'ekizimbe) ye Fred Katende, Ssentebe w'olukiiko olufuzi olw'ekika ky'Olugave." width="703" height="466" ]
Joseph Mulwannyammuli Ssemwogerere (ku kkono) ng'ayanjula enteekateeka y'okuzimba n'okukulaakulanya obutaka bw'ekika e Katende-Mawokota. Akutte empapula (pulaani y'ekizimbe) ye Fred Katende, Ssentebe w'olukiiko olufuzi olw'ekika ky'Olugave.

Wabula oluvannyuma enteekateeka zonna zaayimirira olw'omuggalo gwa corona. 

Wabula kati enkiiko zizzeemu era okusonda ssente okukulaakulanya ekifo ky'Obutaka n'okussaawo ekizimbe galikwoleka kugenda mu maaso.

Mu lukiiko olwatudde ku Silverton Gardens e Mengo - Bulange ku Lwokusatu, Mulwannyammuli nga ye ssentebe w'olukiiko olukulaakulanya obutaka bw'Aboolugave, yasabye abeeyama okutuukiriza kuba omulimu gutandise. Olukiiko lwetabiddwaako omubeezi wa Ndugwa Fred Katende Kyekango, abaamasiga, ab'emituba n'abennyiriri.

 

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts