Bya Wasswa B. Ssentongo
OMUWANDIISI w'obulabirizi bw'e Namirembe, Can. Henry Segawa avumiridde Abakristaayo abayitiridde okuvvoola bannaddini, ekivuddeko ekkanisa okudda emabega.
Bino yabyogedde asisinkanye abaweereza b'obusumba bw'e Mutundwe mu bulabirizi bw'e Namirembe ku Lavanda Resort Beach e Kawuku nga basomesebwa ku ngeri gye bayinza okutwala ekkanisa mu maaso.
Can. Segawa yagambye nti ekkanisa ezimu ekiziremesezza okukola be Bakristaayo wamu n'abaweereza obutakwatagana na babuulizi oba abasumba nga kino kye kivaako okusika omuguwa mu makanisa ne kigazza emabega.
Can. Segawa yategeezezza ng'obuyinza n'amaanyi bwe bitayamba mu kkanisa wabula okukwatagana okutwala ekkanisa mu maaso.
Wabula yeebazizza Abakristaayo okufaayo okuwaayo ku nsonga z'ekkanisa.
Omusumba w'obusumba bw'e Mutundwe, Rev. David Kisakye Ntale yategeezezza nti olusirika luno lubayamba okulaba ng'Abakristaayo babeera beesigwa eri bannaabwe n'okwewala obuvuyo mu kkanisa.
Omukubiriza w'obusumba bwe Mutundwe, Richard Muleme yagambye nti enkola eno ebayamba okwedadabulula ate n'okumanya engeri omukulembeze gy'ayinza okukulembera abantu.