Sunday, March 21, 2021

Baani abanaazuukiza kiraabu ya Victoria University

Baani abanaazuukiza kiraabu ya Victoria University

OLUVANNYUMA lw'ebbanga nga ttiimu ya Victoria University esaanyewo, abakulira ettendekero lino batandise kaweefube w'okunoonya abazannyi bagizzeewo.

Nga bayitira ku mikutu gimugattabantu, aba yunivasite baayise buli eyeewulira nti alina ekitone ky'omupiira okugenda ku Kampala Parents alage ky'alinawo.
Wabula buli ajja alina okuba nga yamalako S6, era abazannyi 12 abanaasukkuluma ku bannaabwe, be bagenda okuzimbirwa ttiimu.

" Tulina enteekateeka okutumbula ebitone bya Bannayuganda abamalirizza S6 mu mupiira n'emizannyo emirala. Abanaalondebwa baakuweebwa sikaala basomere bwereere nga bwe bazannya," Dr. Lawrence Muganga, amyuka akulira yunivasite ya Victoria bwe yannyonnyodde.

Wabaddewo omupiira wakati w'abazannyi ba ttiimu ennonderere ne Victoria University, nga gye byaggweeredde nga bannyinimu bamize ggoolo 5-1.

Bano oluvannyuma baabaleetedde abazannyi okwabadde kapiteeni wa ttiimu y'eggwanga ey'abatasussa myaka 20, (The Hippos), Gavin Kizito, n'abalala abaaguzannyako, okubasomesa engeri gy'okukulaakulanya ebitone byabwe.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts