Sunday, March 21, 2021

Kkooti enywezezza ekiragiro ekigoba bba wa Nabilah awaka

Kkooti enywezezza ekiragiro ekigoba bba wa Nabilah awaka

KKOOTI enywezezza ekiragiro ekigaana bba wa Nabilah okugenda mu maka gaabwe e Buziga.

Omusango gwabadde gukomyeewo mu kkooti okuwulirwa ku Lwokutaano nga Ssempala asuubirwa okussaamu ensonga ze ng'awakanya ekiragiro ekyateebwawo kyokka tekyagenze mu maaso. Nabilah ne bba bonna tebaabaddewo mu kkooti era baakiikiriddwa balooya baabwe.

Omubaka Nabilah yaddukira mu kkooti ng'asaba eyimirize bba Ssempala okuddamu okugenda mu maka gaabwe agasangibwa e Katuuso - Buziga mu munisipaali y'e Makindye era kkooti ng'egamba Ssempala ayinza okumutuusaako obulabe okusinziira
ku byaliwo.

Amaka Omubaka Naggayi Mw'ayagala Okugoba Bba.

Omulamuzi Patience Lorna Tukundane owa kkooti y'eddaala erisooka e Makindye yayisa ekiragiro ekyo era n'alagira Ssempala asseemu ensonga ze obutasukka Lwokutaano nga March 19 kyokka teyassaamu.

Looya wa Ssempala, Christopher Ochom eyabaddewo ku lw'omuntu we yategeezezza kkooti nti Nabilah teyabawa kiragiro kyayisibwa noolwekyo tebaasobola kussaamu nsonga ze nga bwe kyali kisuubirwa.

Ochom yategeezezza kkooti nti omuntu we tasobodde kubeerawo kyokka amuwadde ebiragiro okutambuza ensonga zonna.

Simon Peter Kiribwa, looya wa Nabilah yategeezezza nti bagenda kuwa looya ekiragiro amangu ddala nga kkooti ewedde olwo Ssempala asobole okussaamu ensonga ze.

Nabilah okusaba kkooti okugoba Ssempala awaka yategeeza omulamuzi nti bba yava awaka mu 2013 era yakomyewo mu January kyokka n'amukolako effujjo eritagambika.

Yategeeza kkooti nti Ssempala yamulumba bwe yali anoonya akalulu k'obwaloodi mmeeya n'amukuba empi mu maaso g'abalonzi ekyamuswaza ennyo ne kimuviirako
n'okufiirwa akalulu.

Yayongerako nti bba era yamukuba bwe yamusanga awaka. Kuno yagattako okukuba omukozi n'omugenyi wa Nabilah gwe yasanga ayitibwa Jacob Imbo era n'amusuubiza okwongera okumutuusaako obulabe.

Oluvannyuma lw'okumukuba, Nabilah yaddukira ku poliisi e Kabalagala n'aggulawo omusango gw'obutabanguko mu maka ku fayiro nnamba SD/REF/64/27/12/2021.

Omulamuzi Tukundane yagambye nti ekiragiro ekigaana Ssempala okugenda mu makaage kisigaddewo okutuusa nga April 9, 2021 lwe bannadda mu kkooti okuwulira
omusango nga Ssempala annyonnyola ensonga ze okumenyawo ekiragiro ekimugoba mu maka ge.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts