Wednesday, March 10, 2021

Babiri bafiiridde mu kabenje e Kigoogwa

Babiri bafiiridde mu kabenje e Kigoogwa

Bya Wasswa B Ssentongo

Abantu babiri ababadde ku piki piki nnamba UEY 047D be bafiiridde mu kabenje akagudde e Kigoogwa ku luguudo oluva e Kampala okudda e Gulu mmotoka ekika kya Harrier bwe batomedde n'edduka.

Abadduukirize nga bayamba poliisi okuteeka emirambo ku kabangali.

Abafudde kuliko: Abdul Kasirye ne Ali Ssenyange Ssebbuza abatuuze b'e Luweero.  Kigambibwa nti akabenje kano kavudde ku mmotoka eno ekika kya Harrier ebadde edduka ennyo okugattira aba pikipiki ku mmotoka ezibadde zisimbye ku mabbali  g'oluguudo.

Abantu baanguye okuyamba abantu bano kyokka bagenze okutuukawo nga bonna bafudde.  Ssentebe w'ekitundu kino, Joseph Senkumba ategeezezza ng'obubenje bwe bususse mu kifo kino nga buva ku mmotoka ezisimba ku mabbali g'oluguudo.

Asabye bekikwatako okuteeka obugulumu mu kifo kibo ab'emmotoka baleme kuvugirawo ndiima. Poliisi okuva e Matugga etutte emirambo mu ggwanika e Mulago ng'okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts