Wednesday, March 10, 2021

Owa State House aleppuka na gwa mmundu

Owa State House aleppuka na gwa mmundu

Bya Margaret Zalwango

OMUKOZI wa State House asimbiddwa mu kkooti y'amagye n'avunaanibwa okusangibwa n'emmundu wamu n'amasasi mu bukyamu.

Caleb Kashungyeera 52, akulira okugula ebintu  mu maka g'obwapulezidenti omutuuze w'e Rakai asimbiddwa mu kkooti y'amagye e Makindye n'avunaanibwa emisango ebiri egy'okusangibwa n'ebyokulwanyisa mu bukyamu.

Kashungyeera yavunaaniddwa n'omubazi w'ebitabo, Modest Rutagengwa 37 omutuuze w'e Makondo mu disitulikiti y'e Lwengo.

Kigambibwa nti bano wakati wa March ne December 2019 mu bitundu bya Kampala baasangibwa n'emmundu ekika kya pisito nnamba UG-POS BO19678 ssaako amasasi 13 agakola obulungi ebigambibwa nti by'abamukwata mmundu kyokka nga bo bantu baabulijjo.

Lt. Gen Andrew Gutti, ssentebe wa kkooti y'abasomedde emisango era bonna ne bagyegaana. Maj Emmy Kyaruhanga akulira oludda oluwaabi asabye baweebwe obudde bongere okunoonyereza kubanga tebannamaliriza kukung'aanya bujulizi.

Gutti alagidde abawawaabirwa batwalibwe mu kkomera e Kitalya okutuusa nga March 30, 2021 lwe bannadda mu kkooti okuwulira okunoonyereza we kutuuse.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts