Tuesday, March 9, 2021

Bannamateeka ba NRM balabudde Bobi ku bulabe bwa kkooti y'abantu

Bannamateeka ba NRM balabudde Bobi ku bulabe bwa kkooti y'abantu

BANNAMATEEKA ba NRM balaze obulabe obuli mu nteekateeka ya Bobi Wine okutwala omusango mu kkooti y'abantu nga bw'azze awera.

Oscar Kihika akulira eby'amateeka mu kibiina kya NRM yategeezezza bannamawulire
nti kkooti y'abantu ya bulabe nnyo era kyangu kya kuviirako abantu okufa olw'okutwalira amateeka mu ngalo.

Yagambye nti embeera eno eyinza okuvaako ne Bobi Wine yennyini okumaliriza ng'akoseddwa ebitagambika.

Yageraageranyizza kkooti eno ku nfa ya Yesu kristo gwe yagambye nti yawanikibwa ku kalabba olw'okusalawo kwa kkooti y'abantu.

Ng'atuuse ku ky'okuggyayo omusango mu kkooti, Kihika yagambye nti kyabasanyusizza nnyo ng'aba NRM era kyayongedde Bannayuganda okumanya obulimba bwa Bobi Wine.

Yannyonnyodde nti obujulizi bwa mirundi 10 bwe yali awaddeyo mu kkooti byonna ebyalimu byali bya bulimba era omusango guba kuwulirwa yali agenda kuswala nnyo olw'okwesigamya ebintu ebisinga obungi ku bulimba.

Yagasseeko nti bw'otunula mu ffayiro za kkooti ezaabadde zimaze okukolebwa olaba nga Bobi Wine okuviira ddala mu ntandikwa nga n'okukuba kkampeyini tekunnabawo yali yeewera obutagoberera biragiro bya poliisi n'ekigendererwa eky'okwagala okuvumaganya abakwasisa amateeka.


Source
Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts