Abakiise mu lukiiko lwa kanso ya disitulikiti y'e Mukono bakkaanyizza ku ky'okukutula
essaza ly'e Nakifuma ku disitulikiti y'e Mukono okugifuula disitulikiti eyeetongodde
n'ekigendererwa eky'okutuusa empeereza ennungi mu bantu.
Okusinziira ku Samalie Musenero, kansala akiikirira eggombolola y'e Kasawo eyaleese ekiteeso kino, yannyonnyodde ng'essaza lino bwe lirina buli ekyetaagisa okufuulibwa disitulikiti ng'abantu basoba mu 50,000, era nti ekiteeso kino kirudde nga kyogerwaako naye nga tebakisa mu nkola ekisannyalazza egimu ku mirimu gy'ekitundu olw'omutemwa gw'ensimbi omutono ogubaweebwa.