Wednesday, March 3, 2021

Bassentebe mulemere ku mazima - Akulira abakozi mu Wakiso

Bassentebe mulemere ku mazima - Akulira abakozi mu Wakiso

Bya Samuel Tebuseeke

Bassentebe b'ebyalo ku mitendera gya LC1 ne LC11 mu Town Council y'e Kasangati mu Wakiso Disitulikiti bakubiriziddwa bulijjo okufiira ku mazima nga baweereza abantu naddala abo ababa balina obuyambi bwe beetaaga okuva mu ofiisi ya LC1.

Amagezi gano gabaweereddwa Godfrey Akiiki akulira abakozi mu disitulikiti y'e Wakiso bwe yabadde akwasa bassentebe bano sitampu empya ezaavudde mu Gavumenti ng'omukolo gwabadde ku kitebe kya Town Council e Kansangati.

CAO yategeezezza nti abadde afuna amawulire nga bwe waliwo bassentebe abakadde abaalemera sitampu z'ebyalo ng'ate n'abakakiiko nga balina ezaabwe ekintu ekibadde kitabula abantu. Yasabye byonna bikome era anaakwatibwa ne sitampu etali ntuufu waakuvunaanibwa

Umar Lutalo, Town Clerk wa Kasangati Town Council yeebazizza Gavumenti okuvaayo n'eyamba bassentebe bano okusobola okumalawo enkaayana  mu bakulembeze b'ebyalo.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts