Wednesday, March 3, 2021

Gavumenti ewadde ab'e Kayunga obukadde 600 okugaziya eddwaaliro

Gavumenti ewadde ab'e Kayunga obukadde 600 okugaziya eddwaaliro

Bya SAUL WOKULIRA  

GAVUMENTI ewadde ab'e Kayunga obukadde bw'ensimbi 600 okugaziya eddwaaliro lya Busaale mu ggombolola y'e Kayunga n'okulisuumusa okuva ku mutendera gwa Health center II lituuke ku Health center III.

Sserwanga n'abakulu abalala nga balambula eddwaaliro.

          Ku ddwaaliro lino kugenda kuzimbibwako ne woodi y'abakyala abazaala n'okutandika okuwa obujjanjabi obulala  eri abantu abangi abava mu ggombolola endala okuli Kayunga, Busaana ne Kitimbwa.

          Kino kyakuwonya abantu okutindigga eng'endo nga bagenda mu ddwaaliro eddene e Kayunga. Ssentebe wa disitulikiti y'e Kayunga, Tom Sserwanga y'akulembeddemu okutema evvuunike awagenda okuzimbibwa eddwaaliro wamu n'okukwasa mu butongole Bakontulakita aba Infracon Uganda Limited omulimu gw'okuzimba eddwaaliro.

          Sserwanga agambye nti gavumenti era eddwaaliro lino eriwadde n'ebyuma ebikozesebwa okuli ebitanda n'ebirala ebikebera endwadde bya bukadde 200. Sserwanga asiimye Pulezidenti Museveni olwa pulojekiti ezibalirirwa mu buwumbi n'obuwumbi bw'ensimbi gavumenti zeekoze mu Kayunga n'asaba abavubuka baddemu essuubi amaanyi bagasse mu kukola emirimu egivaamu ensimbi.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts