AMATABA agasuza ab'e Lubaga South ku tebuukye tuzudde we gava. Omwala omunene ogwa Nalukolongo Channel oguyiibwako emyala emitono gyonna mu kitundu mucaafu nnyo, abantu basuulamu kasasiro owa buli kika, enkuba bw'etonnya kasasiro yenna baayiwa mu mwala ne guziba ne gulemesebwa okutambuza amazzi.
Twaguguddeko ng'enkuba yaakakya mu Ndeeba webayita ku Butaala, we gusalira mu kkubo nga gwonna gujjuddemu kasasiro naddala ow'ebicupa ate ne gwebaggyamu bamulekaawo ku ngulu, enkuba olutonnya ng'addamu akulukuta agwa mu mwala!