SSAABALABIRIZI w'ekkanisa ya Uganda, Dr. Stephen Kazimba Mugalu alabudde Abakristaayo abeegatta n'abantu abakyamu okubba ettaka ly'ekkanisa. Dr. Kazimba okwogera bino yabadde ku kkanisa ya St. Luke's Church e Ntinda ng'akulembeddemu okusaba kw'okutongoza enteekateeka ey'emyaka 10 ekkanisa eno gy'egenda okuyitamu okutuusa obuweereza ku bantu.
Dr. Kazimba yakangudde ku ddoboozi olw'abantu abali mu makanisa abakolagana n'abantu abakyamu okubba ettaka ly'ekkanisa.
"Omuntu abeera wano naffe, n'amanya buli kimu ekitukwatako oluusi n'obunafu bwaffe. Mu kifo ky'okukwatagana naffe okubaako bye tutereeza, ate yeegatta n'abakyamu okutusuula," Dr. Kazimba bwe yagambye.
Mu kusaba kuno, Dr. Kazimba yagambye nti waliwo ekibiina kya balooya Abakrisitaayo abavuddeyo okukwatagana naye okulwanyisa n'okumalawo ekibbattaka mu kkanisa era n'agamba nti ajja kukolagana nabo bulungi okumalawo ekizibu kino.
Ate ye Rev. Samuel Kizito Kyakulagira, Viccar w'ekkanisa ya St. Luke Ntinda yakuutidde abakkiriza bulijjo okwewala entalo wabula bakolere wamu okukulaakukanya ekkanisa wamu n'eggwanga okutwaliza awamu. Enteekateeka y'ekkanisa ey'emyaka 10 yayanjuddwa Emily Katarikawe ng'egenda kumalawo obuwumbi 46.
Source