Monday, March 22, 2021

Engeri Ham gy'alambuluddemu eby'enfuluma n'okwekulaakulanya mu kitabo "REASON AS THE WOLRD MASTERPIECE"

OMUSUUBUZI Hamis Kiggundu amanyiddwa nga Ham awandiise ekitabo ku kkubo Uganda ly'erina okukwata okutumbula ebyenfuna. Ekitabo kino akituumye "REASON AS THE WOLRD MASTERPIECE". Joseph Mutebi ne Margret Zalwango bakulaze ebiri mu katabo kano naddala amagezi agakuyamba okukulaakulana n'okukyusa obulamu bwo.

EKIMU ku birina okuleetera Bannayuganda okwenyumirirza mu ggwanga lyabwe ky'ekyo ky'abeera akoze mu kukulaakulanya n'okutumbula ensi ye. Bannayuuganda bangi tebayambye ggwanga lyabwe olwo Uganda n'esigala nga njavu. Mu kitabo ky'omusuubuzi Hamis Kiggundu amanyiddwa nga Ham ekiyitibwa "REASON AS THE WOLRD MASTERPIECE" agamba nti okukyusa endowooza z'abantu kirina kukolebwa mu ggwanga lyonna okukwata ekkubo ettuufu mu nkulaakulana y'eggwanga nga tewali kitundu oba muntu asigalidde mabega.

                                             Ekifo ku luguudo lwa Entebbe Expressway, Ham w'azimba ekkolero erinaalongoosa ebirime n'okubyongerako omutindo.

Mu kitabo kino annyonnyola obuwanguzi n'okulemererwa kw'Abafrika nga kusinziira ku ndowooza n'embeera ebeera eriwo. Ham annyonnyola mu kitabo kino nti Uganda bw'eba yaakutuuka ku nkulaakulana eyanamaddala, abantu balina okwewaayo okukolera awamu nga kiva ku ntobo y'emitima gyabwe ne mu ndowooza nga bettanira okutumbula Uganda eyawamu.

Bannayuganda balina okumanya nti enkulaakalana y'eggwanga terina kukolebwa ng'abalina gwe bayamba wabula okumanya nti buli omu kimukakatako. Okutuuka kwekyo Ham agamba nti abantu balina okukomya okwettanira eby'ekiseera ekitono kuba enkulaakulana ejja na kwewaayo ng'okulembeza nsi yo okusinga byonna. Gavumenti erina okutunula mu byobufuzi, ebyobulamu bwabulijjo n'amateeka mu byenfuna, ebitongole bya gavumenti n'enkola yaabyo ey'emirimu okulaba oba ddala biriwo ku lw'obulungi bwa Uganda.

Ebyobulimi n'obulunzi ly'ekkubo okukulaakulana

Mu kitabo kino Ham agamba nti ebyobugagga Uganda by'esinga okubeera nabyo okwawukanako n'ensi za Africa nnyingi kwe kubeera n'embeera y'obudde eyeeyagaza mwaka ku mwaka, ettaka ejjimu ssaako abantu abali mu myaka egikola (abavubuka) abangi. Abavubuka bano nga balina n'amaanyi bali ebitundu 70 ku buli 100 ku Bannayuganda abasukka mu bukadde 40 mu kiseera kino kyokka tebeenyigira bulungi mu mirimu givaamu ssente.
Ekibuuzo ekisigala mu ddiiro kiri nti tukwataganya tutya abavubuka abalina amaanyi ate nga bato okubaagazisa okwenyigira mu byobulimi? Kino tekitegeeza nti tubeera tubawadde mirimu gyokka mwe baggya ensimbi wabula kiyamba n'eggwanga okugaziya ku musolo gwe liyingiza olw'okwenyigira mu byobulimi n'obulunzi ebivaamu ssente.
Bwe tufuula ebyobulimi omulimu ne tuzimba n'amakolero agalongoosa ebirimibwa n'okubyongerako omutindo kijja kufuula ebirimu byaffe ebyettunzi wano mu Uganda, mu mawanga ga Afrika ne mu nsi yonna okutwaliza awamu. Ham agamba nti ssinga okulima n'okulunda bifuulibwa omulimu nga n'ebirimibwa birina akatale kijja kuleetera abavubuka ababadde batunda ettaka ne bajja mu bibuga okuvuga bodaboda n'obugaali okuddayo mu byalo balime kuba bajja kulaba nga bafuna ssente nnyingi okusinga ku ze babadde bakola.
Ham annyonnyola nti ssinga wano tunaazimba amakolero agalongoosa n'okwongera omutindo ku birimibwa n'ebirundibwa kijja kuyamba okukendeeza ku kusuubula ebintu ebweru. Mu kiseera kino Bannayuganda ebintu bye basuubula okuva ebweru bibeera mu bukadde na bukadde bwa doola nga mu kino ssente ezisaasaanyizibwa mu kusuubula ebintu bino ssinga zisigala mu Uganda zijja kuyamba okwongera okutumbula ebyenfuna n'empeereza eri Bannayuganda. Mu kiseera kino amawanga agasinga agatwetoolodde geesigamye ku byamaguzi ebirongooseddwa n'okwongerwako omutindo okuva mu mawanga ga Bulaaya, Amerika ne China. Bwe kityo ssinga naffe Uganda tunaasalawo okuzimba amakolero gano agalongoosa n'okwongera omutindo ku birime tujja kuba tusobola okuwamba akatale kano kutusobozese okwongera okutumbula ebyenfuna by'eggwanga n'okukulaakulana gye bujja.
                                                                                                                                        Ekkolero erizimbibwa.
Tuleme kulowooleza mu Bazungu okutumbula ebyenfuna byaffe
OMUGAGGA Ham agamba nti ssinga Uganda essaawo amakolero gano agasobola okuvuganya obulungi mu mutindo n'agali mu Bulaaya, China ne Amerika nga tugattako embeera y'obudde ennungi gye tulina, ettaka ejjimu n'omuwendo gw'abavubuka abakyalina amaanyi, tujja kusobola okukola ebyamaguzi ebiriisa abantu asasoba mu bukadde 500 mu nsi ez'enjawulo.
Nga weesigamye ku bino ebyogeddwaako waggulu, Uganda erina obusobozi okwerwanako okuva mu mawanga ga lunkumpe okutuuka ku gali obulungi mu byenfuna mu bbanga lya myaka wakati w'etaano n'omunaana ssinga tunaaba tufudde obulimi omulimu.
Nga Bannayuganda tulina okukwatira awamu okussaawo enkulaakulana ne tutalinda mawanga g'Abazungu okujja wano okutukulaakulanyiza ensi yaffe. Okukulaakulanya ensi yaffe tulina okuwaayo omuwendo kuba tulina ebyobugagga kyokka ekibuuzo kiri nti tukozesa tutya kye tulina buli Munnayuganda okusobola okuganyulwa ng'omuntu n'eggwanga okutwaliza awamu. Katonda bw'awa omuntu ebyobugagga ebiyitirivu abeera akutadde ku minzaani okumanya nti ne bw'oba olina emmotoka 1,000 osobola kutambulira mu mmotoka emu mu kiseera ekyo so nga ne bw'oba osula mu bwaguuga bw'ennyumba ey'ebisenge 100, era osobola kusula mu kisenge kimu mu kiseera ekyo.
Twettanira nnyo okukuηηaanya ebyobugagga n'obugagga kyokka ebyetaago byaffe ebya buli lunaku bitono ate biriko n'ekkomo. Ku ntikko ya byonna tulina okumanya nti okugaggawala kw'omuntu kwesigamizibwa ku bantu abalala abamwetoolodde. Ne bw'okola otya n'ogaggawala ng'omuntu omu kyokka ng'abakwetoolodde beeyaguza luggyo tekiyamba kutwala nkulaakulana ya kitundu, ekirina okukolebwa kwe kukwataganyiza awamu ng'ekitundu oba eggwanga okusobola okutambulira mu buufu bwe bumu.
Ham agamba nti embeera eno ye yamuwaliriza okussa obuwumbi bwa ssente za Uganda bubiri mu kunoonyereza ku byobulimi n'obulunzi n'engeri y'okubirongoosa n'okubyongerako omutindo okusobola okuganyula Bannayuganda n'eggwanga okutwaliza awamu.
Twetaaga bbanka ey'abalimi n'abalunzi
Mu kunoonyereza kuno twasobola okugabanya Uganda mu bitundu 10 nga tusinziira ku bujimu bw'ettaka na biki ebisobola okulimibwako n'okulundirako mu bitundu ebyo. Ebirime okugeza ebivaamu emmere, ppamba, kasooli, entungo, amatooke, ebijanjaalo, muwogo, kooko, entangawuzi, obulo, ebinyeebwa, obummonde, obutunda, omuceere, ssoya, omuwemba, lumonde, taaba n'ebisolo awamu n'omuddo gwe birya.
Ebitundu bino 10 kuliko ebyetoolodde ennyanja Nnalubaale mu masekkati ga Uganda, mu bugwanjuba awalundibwa amagana ne mu bukiikaddyo bw'obugwanjuba. Okusinziira ku kunoonyereza kwe nnakola ekkolero limu lyetaaga obukadde bwa doola 156 (mu za Uganda obuwumbi 577) nga ssinga kikolebwa mu zzooni zino 100 kyetaaga obuwumbi bwa ssente ezitasobola kukuηηaanyizibwa bbanka za kuno nga wadde ssinga zisalawo okuwagira omulimu guno tezisobola kufuna nsimbi zivujjirira omulimu gw'okuzimba amakolero 10 mu bitundu bya Uganda eby'enjawulo.
Mu mbeera eno kye nnava nsalawo ng'omuntu okutandikawo ekkolero mu masekkati ga Uganda nga liri e Bwebajja ku luguudo lwa Entebbe Expressway nga nsuubira nti Katonda bw'anaaba atuwadde omukisa ejja kuba entandikwa y'okuzimba amakolero gano gabune okwetooloola eggwanga nga neegattiddwaako Gavumenti n'abagagga abalala gye bujja. Mu byonna abalimi beetaaga okuyambibwako nga baweebwa bbanka y'ebyobulimi esobola okuwola abalimi mu ng'eri y'ebikozesebwa mu nnimiro, ensigo, okugula ebyuma eby'omulembe bongere omutindo mu bye balima.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts