KYADDAAKI Ssentebe w'akatale k'e Nakawa, Charles Okuni n'olukiiko lwe bawaddeyo ofiisi eri olukiiko oluggya olwalondebwa KCCA oluvannyuma lw'emyaka 8 nga bali mu bukulembeze buno. Bano baawummuzibwa omwaka oguwedde kyokka ne balemera mu ofiisi.
Okuni bwe yabadde awaayo ofiisi, yagambye nti abadde tasobola kujeemera kiragiro kya Pulezidenti Museveni eyalagira okuyimiriza obukulembeze bwonna mu butale bwa Kampala oluvannyuma lw'abasuubuzi okwemulugunya okubanyunyunta.
Yategeezezza nti mu bukulembeze bwe wabaddewo emirembe mu katale nga tewali kwekalakaasa kwonna kwe bakkiriza bwatyo n'asaba Joseph Mudhasi n'olukiiko lwe oluggya olwalondebwa lukole kye kimu. Okuni yagambye nti waliwo emisango gye baabaggulako nabo gye baawaaba mu kkooti e Nakawa nga gino olukiiko oluggya lulina okugitegeera wamu n'okutwala mu maaso pulojekiti ze babadde baatandikawo okukulaakulanya abasuubuzi.
Denis Omodi Town Clerk wa Munisipaali y'e Nakawa eyakuliddemu omukolo guno yalabudde ng'akatale k'e Nakawa bwe katali kaakutundibwa era abakulembeze abaggya tebalina kukirowoozaako. Yategeezezza nti KCCA eyagala buli musuubuzi afune w'akolera era bagenze bagula ettaka mu Nakawa nga muno mulimu e Kinnawataka ne Kiswa era bazimba n'akatale e Kitintale. Yagambye nti okuva Pulezidenti Museveni lwe yayisa ekiragiro mu katale k'e Nakawa emisolo egisoloozebwa gyakendeera, ssente z'emidaala nazo ziri wansi, amabanja bagasasula wamu n'okugonjoola ekizibu ky'amasannyalaze abasuubuzi bano kye baali beemulugunyaako.
Omodi yagumizza abasuubuzi bano ng'obukulembeze bwa Mudhasi ne banne bwe buli obw'ekiseera era nga bagenda kutegeka okulonda mu butale bwa KCCA abasuubuzi balonde abakulembeze be baagala.
Okuva Minisita wa Kampala, Betty Amongi bwe yayimiriza obukulembeze bwa Okuni omwaka oguwedde babadde tebawangayo ofiisi.
Joseph Mudhasi, Seeka Kibirango ne Rose Otiti abaalondeddwa baasuubizza okukulembera obulungi abasuubuzi mu kiseera kye banaabeera mu ofiisi naye ne basaba abasuubuzi bwe babeera bafunye obuzibu basooke baddukire mu ofiisi yaabwe nga tebannagenda mu KCCA.