Sunday, March 7, 2021

Engeri Paapa gye yeesitudde okusisinkana Omuwalabu atatuukikako

Engeri Paapa gye yeesitudde okusisinkana Omuwalabu atatuukikako

PAAPA Francis ‘Baba al Vatican' (nga bwe bamuyita mu Iraq) ku bugenyi obwebyafaayo mu Iraq yasisinkanye n'omukulembeze wa Iraq, Grand Ayatollah Ali Sistani.

Obugenyi buno bukulu nnyo kubanga mu byafaayo by'ensi ono ye Paapa asoose okukyala mu ggwanga lya Iraq era olugendo lwe yasoose okukyalako ebweru wa Yitale okuva corona lwe yatandika lwe yayogeddeko nti, abadde mu lukomera e Vatican olwa corona.

Olugendo yalutandise ku Lwakutaano n'ayanirizibwa mu ngeri ya kimpowooze wakati mu kwerinda corona n'abatujju.

Pulezidenti Wa Iraq Barham Salih Ne Paapa Francis.

Oluseregende Lwa Pikipiki N'emmotoka Nga Baggya Paapa Francis Ku Kisaawe.

Katikkiro Wa Iraq, Mustafa Al Kadhimi Ne Paapa Ku Kisaawe E Baghdad.

Ku Lwomukaaga lwe yatudde mu nsisinkano ne Ayatollah Sistani oluvannyuma n'ayimba Mmisa eyeekitiibwa mu kisaawe kya Irbil.

Ekigendererwa ekisinga okubeera ekikulu mu kulambula kwa Paapa kuno ye kaweefube w'okuzzaawo emirembe n'okukomya okuyigganya Abakatoliki nga baali 1,5000,000 wabula nga kati basigadde 400,000 gyokka.

Abasiraamu mu Iraq baatandika okuyigganya Aabakatoliki nga babakaka Okusiramuka
abo abagaana nga babatta ate abalala ne bawalirizibwa okudduka mu ggwanga lino.

Paapa yagambye nti, agenze mu Iraq okubakakasa nti, buli bulamu bwa muwendo era mu kitundu kya Buwarabu abagoberezi ba Kristo bwe baba bayigganyizibwa kubeera nga okufumba omugaati n'otateekamu kizimbulukusa oba omunnyo kubanga ebyafaayo
by'abagoberezi ba Kristo mu kitundu kino gye bisibuka.

Katikkiro wa Iraq, Mustafa al-Kadhimi ye yayanirizza Paapa Francis. Omugenzi Paapa John Paul yali ategese okukyala mu Iraq omwaka gwa 1999 kyokka olugendo
ne lusazibwamu ku ssaawa esembayo olw'akazito akaali kassiddwa ku Saddam Hussein n'okutya abatujju.

Paapa atuuse mu bifo eby'enkizo nga e Najaf awagambibwa okubeera nti, Nabbi Muhammed we yaziikibwa awatudde muganda we Imam Ali era ono wa kitiibwa nnyo mu Basiraamu e Iraq n'okwetoloola ensi.

Ayatollah Sistani ku myaka 90 gy'aliko tatera kulabika mu lujjudde era tasisinkana bantu, kyokka Paapa Francis 84 yamukkirizisizza ne basisinkana.

Paapa Francis ekiseera kyonna aludde ng'alwanirira okuzzaawo emirembe, okukubiriza
abakulembeze okwogerezeganya n'okukkaanya n'okugumiikiriza abalala.

Waagendedde mu Iraq, nga waakayitawo emyaka ebiri ng'avudde mu Abu Dhabi gye yasisinkanira Sheikh Ahmed al-Tayeb omukulembeze w'Abasunni era Imam wa Al-Azhar, baateesa ku nsonga ez'enjawulo ne bateeka n'omukono ku kiwandiiko.

Era ye Paapa eyasooka okukyala mu kitundu ekyo n'akyusa ebyafaayo ng'alaga okukkaanya n'Abasiram Abasunni. Baagatta eddoboozi ne bakunga abantu bonna okweoloola ensi okukolerera emirembe.

Wabula Paapa we yatuukidde ng'alabika akooye era emirundi mingi yabadde atambula awenyera, kyokka okukyala kuno kwabadde kukulu nnyo okulaba nga kunyweza enkolagana wakati w'Abasiraamu n'abakkiririza mu Kristo.

Ayatollah Sistani aludde ng'akyogera nti Abasiraamu tebakkirizibwa kutta bantu
balala eno ye njiri y'emu gye yaggumizza ng'asisinkanye Paapa. Kyokka Paapa
ng'omukulembeze w'eddiini y'Abakatoliki mu nsi yonna era akulira Vatican, okukyalakwe kwawadde obubaka bwamaanyi mu byobufuzi bwa Iraq.

OKUNYWEZA OKUKKIRIZA
Okukyala kwa Paapa mu mawanga ga Buwarabu kuyamba nnyo okunyweza eddembe
ly'okusinza n'okuwa abantu omwagaanya okweyogerera n'okuyamba abanyigirizibwa okunyweza obutuuze bwabwe.

Kyokka kirina kukolebwa n'obwegendereza bungi kubanga waliwo abatakkiririza
mu Kristu nga buli lwe balaba ababuulira enjiri ey'okukyuka bamutwala ng'omulabe waabwe era basobola okumukolako obulumbaganyi.

Kino kinywezebwa okuggyawo oluwonko nga Paapa asisikanye Ayatollah Sistani kubanga bangi abamukkirizaamu ng'omukulembeze ow'eggwanga era omukulembeze
mu ddiini.

Paapa ng'ali mu Abu Dhabi yakiggumiza nti omuntu okubeera n'eddembe mu ddiini ye tekitegeeza ddembe lya kusinza kyokka wabula n'omuntu okuweebwa omukisa n'abeera ng'asobola okukyusa eddiini w'abeera ayagalidde nga bwe kiri ng'Abakatoliki bangi bakyuka okufuuka Abasiraamu oba okudda mu nzikiriza ya Budha.

IRAQ N'ENZIKIRIZA NE BAYIBULI
Abakkiririza mu Kristu bwe babeera basoma Bayibuli, basoma okuva ekitabo ekirambika ensibuko y'eddiini awaali olusuku Edeni, Adam ne Kaawa we baddiza omusango ogubateekesaako ekibi ekisikire kifo ekiri mu Iraq.

Ensi bwe yagenda ekyuka Iran ne bagiyita Mesopotamia ng'egatta ettundutundu
eritwala Misiri, Iraq n'emiriraano. Ennimiro y'e Eden nga bw'eyogerwako
mu ndagaano enkadde ky'ekitundu kati ekirimu eggwanga lya Iraq era ekitundu
abanoonyereza ku byafaayo we bagamba nti we waazimbibwa omunaala gw'e Baberi.

Okusinziira ku Kalidinali Louis Sako ow'e Baghdad, ebifo bino byonna eby'enkizo Paapa yabadde waakutuukayo nga Ur jjajja w'abakkiriza Yibulahim we yazaalibwa.

Enkoomi Danyeri ne banne Kabaka Nebukaduneeza mwe yalagira babasuulemu
baggweerere kyokka Katonda n'abataasa ekifo we yali kisangibwa mu Iraq.

Paapa Francis nga yakatuuka e Iraq yabawadde obubaka n'alabula okukomya
embeera y'obwannalukalala bw'eddiini. Okukomya ebikolwa eby'okutyoboola
eddembe ly'obuntu, okutondawo obubinja n'embeera y'ebikolwa ebitaliimu kugumiikiriza.

               Ayatollah Sayyid Ali

AYATOLLAH SAYYID ALI AL HUSAYNI AL SISTANI Y'ANI?

GRAND Ayatollah Sayyid Ali al-Husayni al-Sistani 90, y'akulira Abasiraamu Abashia bonna mu Iraq. Y'omu ku Basiraamu 500 abamanyi mu nsi yonna. Mu Iraq ye musajja asinga okutiibwa nga ne Gavumenti mw'ogitwalidde.

Ebirowoozo bye n'ebiragiro ku by'ayagala, abiyisa mu Bamasheikh ababunye Iraq yonna n'okwetoloola ensi yonna mu Bashia.

Obulamu bwe ssi bwa kwejalabya ate tatambulatambula mu Iraq wadde okugivaamu okuggyako ng'ensonga ya bulwadde.

Lwe yavaako mu Iraq gwali mwezi gwa August mu 2004 bwe yalinnyisibwa ennyonyi
n'atwalibwa e Bungereza okumujjanjaba omutima okuva olwo taddangamu
kufuluma ggwanga lino.

Ayatollah Sistani abeera mu kitundu ky'e Najaf kyokka ng'amaka ge n'obulamu bwe ssi
bya kwejalabya ng'abakulembeze abalala wadde alina ssente mpitiriivu ezibalirirwa mu bukadde bwa ddoola.

Kyokka ssente zino tazirya yekka alina ebitongole abizimba amakolero okuwa abantu emirimu, okulabirira Abashia abaali badduse mu Iraq mu biseera bya Saddam ate mu kiseera kino aweerera abaana 35,000 e Qom, abayizi 10,000 mu kitundu kya
Mashhad, n'abalala 4,000 mu Isfahan.

Mu maka ge abeeramu ne mutabani we Muhammad Rida al-Sistani (abaana abalala tebalabikangako mu mawulire) ng'ono yayaniriza abagenyi oluvannyuma n'abatuusa ku kitaawe.

Ayatollah tasitukira mugenyi amukyalidde kumwaniriza kyokka ku Paapa kyategeerekese nti, agenda kusituka amwanirize n'oluvannyuma bagende mu kafubo akagenda okumala eddakiika 40.

Okuggyako abataputa babiri, tewali muntu mulala agenda kukkirizibwa kwetaba mu kafubo kano.

Okumanya ekitiibwa kye ky'amaanyi, mu biseera bya Saddam Hussein yatta abamanyi
bangi okwali ne Ayatollah Muhammad Muhammad Sadiq al-Sadr eyakolokota ennyo Gavumenti ya Saddam ng'ayagala enkyukakyuka ne bamutta abalala bangi ne babasiba mu makomera.

Wabula Grand Ayatollah Asayyid ye teyanyigirizibwa nnyo. Kyokka mu ttundutundu lya
mayiro ng'emu ku makubo gonna agatuuka ewuwe kwaliko abaserikale okutangira omuntu yenna okumutuukako.

Wabula abamanyi embeera ze n'obulamu bwe kino kyali tekimunyigiriza kubanga tatambula era tamala galabibwa mu bantu.

Ayatollah bw'aba anaayisa ‘fatwa' ekiragiro abiyisa mu bayambi be okwetooloola ensi yonna. Fatwa ezikyasembyeyo yaziyisa mu 2013 okukomya okutta Abashia oba
beerwaneko n'eya June 13, 2014 Abashia okuyingira ebitongole byebyokwerinda.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts